Buuka ogende ku bubaka obulimu

ABAVUBUKA BABUUZA

Lwaki Nsaanidde Okusaba?

Lwaki Nsaanidde Okusaba?

 Abavubuka bangi bagamba nti basaba, naye ekyo tebakikola buli lunaku. Abamu beebuuza obanga okusaba kintu ekikolebwa omuntu okusobola okuwulira obuwulizi obulungi, oba nti kisingawo ku ekyo.

 Okusaba kye ki?

 Okusaba kwe kwogera n’Omutonzi w’ebintu byonna. Kirowoozeeko, Yakuwa asingira wala abantu, kyokka “tali wala wa buli omu ku ffe.” (Ebikolwa 17:27) Mu butuufu, Bayibuli egamba nti: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.”​—Yakobo 4:8.

 Oyinza otya okusemberera Katonda?

  •   Engeri emu gy’oyinza okusemberera Katonda, kwe kumusaba. Era eyo ye ngeri gy’oyogeramu naye.

  •   Engeri endala kwe kusoma Bayibuli. Era awo Katonda aba ayogera naawe.

 Bw’owuliziganya ne Katonda okuyitira mu kusaba n’okusoma Bayibuli, ojja kufuuka mukwano gwe.

 “Okwogera ne Yakuwa, Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, ye nkizo esinga zonna omuntu gy’ayinza okufuna.”​—Jeremy.

 “Okubuulira Yakuwa ebindi ku mutima kindeetera okuwulira nga ndi kumpi naye.”​—Miranda.

 Katonda awulira okusaba?

 Wadde ng’okkiririza mu Katonda era ng’omusaba, kiyinza okukuzibuwalira okukikkiriza nti awulira okusaba kwo. Kyokka Bayibuli Yakuwa emuyita oyo “Awulira okusaba.” (Zabbuli 65:2) Ate era Bayibuli ekugamba ‘okumukwasa byonna ebikweraliikiriza.’ Lwaki? ‘Kubanga akufaako.’​—1 Peetero 5:7.

 Eky’okulowoozaako: Otera okwogera ne mikwano gyo? Osobola okukola kye kimu n’eri Katonda. Musabe buli lunaku ng’okozesa erinnya lye, Yakuwa. (Zabbuli 86:5-7; 88:9) Mu butuufu, Bayibuli ekugamba nti “musabenga obutayosa.”​—1 Abasessalonika 5:17.

 “Bwe nsaba, mba njogera ne Kitange ow’omu ggulu, era mmubuulira byonna ebindi ku mutima.”​—Moises.

 “Mbuulira Yakuwa byonna ebindi ku mutima nga bwe nnandibibuulidde maama wange oba mukwano gwange ow’oku lusegere.”​—Karen.

 Biki bye nnyinza okwogerako nga nsaba?

 Bayibuli egamba nti: “Mu buli nsonga yonna mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga.”​—Abafiripi 4:6.

 Ekyo kitegeeza nti bw’oba osaba osobola okubuulira Katonda ebizibu byo? Yee! Mu butuufu, Bayibuli egamba nti: “Omugugu gwo gutikke Yakuwa, era naye anaakuwaniriranga.”​—Zabbuli 55:22.

 Kyo kituufu nti bw’oba osaba, tosaanidde kwogera ku bizibu byo byokka. Omuwala ayitibwa Chantelle agamba nti: “Yakuwa teyandibadde mukwano gwange wa nnamaddala singa nnali mmubuulira bizibu byange byokka. Mpulira nti nnina kusooka kumwebaza, era eby’okumwebaza mbirina.”

 Eky’okulowoozaako: Biki Yakuwa by’akukoledde by’osaanidde okumwebaza? Osobola okulowoozaayo ku bintu bisatu Yakuwa by’akukoledde leero by’osobola okumwebaza?

 “N’ekintu ekitono ennyo, gamba ng’ekimuli ekikulabikidde obulungi, osobola okukyebaliza Yakuwa.”​—Anita.

 “Lowooza ku kintu kimu Yakuwa kye yatonda ekikusanyusa oba olunyiriri mu Bayibuli olukukutteko, weebaze Yakuwa.”​—Brian.