Buuka ogende ku bubaka obulimu

Bayibuli Eyogera ki ku Kuteekebwako Omusaayi?

Bayibuli Eyogera ki ku Kuteekebwako Omusaayi?

Bayibuli ky’egamba

 Bayibuli etugaana okulya, okunywa, oba okuteekebwako omusaayi. N’olwekyo, tetusaanidde kukkiriza kuteekebwako musaayi oba ebitundu byagwo ebikulu. Weetegereze ebyawandiikibwa bino wammanga:

  •   Olubereberye 9:4. Oluvannyuma lw’Amataba, Katonda yakkiriza Nuuwa n’ab’omu maka ge okulya ennyama, naye n’abagaana okulya omusaayi. Katonda yagamba Nuuwa nti: “Temulyanga ennyama erimu obulamu bwayo, nga gwe musaayi gwayo.” Ekiragiro ekyo kikwata ku bantu bonna kubanga abantu bonna abaliwo kati baava mu Nuuwa.

  •   Eby’Abaleevi 17:14. “Temulyanga musaayi gwa kiramu kyonna, kubanga obulamu bwa buli kiramu buli mu musaayi gwakyo. Buli anaagulyanga anattibwanga.” Katonda yakiraga nti obulamu bw’ekiramu buba mu musaayi gwakyo, era obulamu obwo y’abulinako obwa nnannyini. Wadde ng’ekiragiro ekyo kyaweebwa ggwanga lya Isirayiri, kituyamba okumanya endowooza Katonda gy’alina ku kulya omusaayi.

  •   Ebikolwa 15:20. ‘Mwewale omusaayi.’ Katonda yawa Abakristaayo ekiragiro kye kimu ng’ekyo kye yawa Nuuwa. Ebyafaayo biraga nti Abakristaayo abaasooka beewala okulya omusaayi oba okugukozesa mu by’obujjanjabi.

Lwaki Katonda atulagira okwewala omusaayi?

 Waliwo obukakafu obulaga nti okuteekebwako omusaayi kya kabi eri obulamu bw’omuntu. N’ekisinga obukulu, Katonda atulagira okwewala omusaayi kubanga gukiikirira obulamu, ate ng’obulamu butukuvu mu maaso ga Katonda.—Eby’Abaleevi 17:11; Abakkolosaayi 1:20.