Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ebyogerwa Abo Abaabulako Akatono Okufa​—Bituufu?

Ebyogerwa Abo Abaabulako Akatono Okufa​—Bituufu?

Bayibuli ky’egamba

 Abantu abamu abalwala ennyo ne babulako katono okufa batera okugamba nti omwoyo gwabavaamu ne gugenda mu kifo eky’enjawulo, nti baalaba ekitangaala eky’amaanyi, oba nti baalaba ekifo ekitemagana. Ekitabo ekiyitibwa Recollections of Death kigamba nti, ‘Abantu ng’abo bagamba nti baba bafunye akisa okuloza ku bulamu obulala.’ Wadde nga Bayibuli teyogera ku bantu abaaliko mu mbeera ng’eyo, erimu amazima agatuyamba okumanya nti abantu abo baba tebagenzeeko mu bulamu bulala.

 Abafu tebaliiko kye bamanyi.

Bayibuli egamba nti “abafu tebaliiko kye bamanyi.” (Omubuulizi 9:5) Omuntu bw’afa, aba tagenze mu bulamu bulala era aba takyalowooza, wabula aba takyaliwo. Bayibuli teyigiriza nti omuntu bw’afa omwoyo gusigala mulamu. (Ezeekyeri 18:4) N’olwekyo, ebyo abantu ababa abayi bye bagamba nti baalabye eggulu, ggeyeena, oba obulamu obulala tebiba bituufu.

 Laazaalo bwe yafa alina bye yalaba?

Ebyo Bayibuli by’eyogera ku kufa kwa Laazaalo byaliyo ddala. Yafa n’amala ennaku nnya mu ntaana oluvannyuma Yesu n’amuzuukiza. (Yokaana 11:38-​44) Singa Laazaalo yali mu bulamu bulungi oluvannyuma lw’okufa, tekyandibadde kya bwenkanya Yesu kumuzuukiza n’amukomyawo ku nsi, era Laazaalo talina kye yayogera ku bulamu ng’obwo. Singa Laazaalo yali mu bulamu bulala, yandinyumizza ebikwata ku bulamu obwo. Laazaalo bwe yafa, Yesu yagamba nti yali yeebase, ekitegeeza nti Laazaalo yali taliiko ky’amanyi.​—Yokaana 11:11-​14.