Buuka ogende ku bubaka obulimu

Kibi ki Adamu ne Kaawa Kye Baakola?

Kibi ki Adamu ne Kaawa Kye Baakola?

Bayibuli ky’egamba

 Adamu ne Kaawa be bantu abaasooka okukola ekibi. Bwe baajeemera Katonda ne balya ku muti “ogw’okumanya ekirungi n’ekibi,” baakola ekibi abantu abasinga obungi kye bayita ekibi ekyasooka. * (Olubereberye 2:16, 17; 3:6; Abaruumi 5:19) Adamu ne Kaawa baagaanibwa okulya ku muti ogwo olw’okuba gwali gukiikirira obufuzi bwa Katonda, oba nti y’alina obuyinza okusalirawo abantu ekirungi n’ekibi. Adamu ne Kaawa bwe baalya ku muti beddiza obuyinza obutaali bwabwe, obw’okwesalirawo ekirungi n’ekibi. Bwe baakola batyo, baalaga nti Katonda si y’alina okubateerawo emitindo gy’empisa.

 Ekibi Adamu ne Kaawa kye baakola kyabakwatako kitya?

 Olw’okuba Adamu ne Kaawa baayonoona, baakaddiwa era oluvannyuma ne bafa. Baafiirwa enkolagana yaabwe ne Katonda era ne bafiirwa n’omukisa ogw’okuba abalamu obulungi emirembe gyonna.—Olubereberye 3:19.

 Ekibi Adamu ne Kaawa kye baakola kitukwatako kitya?

 Abantu bonna baasikira ekibi okuva ku Adamu ne Kaawa. Ekyo kisobola okugeraageranyizibwa ku baana okusikira obulwadde okuva ku bazadde baabwe. (Abaruumi 5:12) N’olwekyo, abantu bonna baazaalibwa “mu kibi,” * kwe kugamba, tuzaalibwa nga tetutuukiridde era nga twekubidde ku kukola bibi byereere.—Zabbuli 51:5; Abeefeso 2:3.

 Olw’okuba twasikira ekibi, oba obutali butuukirivu, tulwala, tukaddiwa, era ne tufa. (Abaruumi 6:23) Ate era, tubonaabona olw’ebyo ebiva mu kwonoona kwaffe n’okw’abalala.—Omubuulizi 8:9; Yakobo 3:2.

 Tusobola okununulibwa okuva mu ebyo ebyava mu kibi Adamu ne Kaawa kye baakola?

 Yee. Bayibuli egamba nti Yesu yawaayo obulamu bwe “okuba ssaddaaka etangirira ebibi byaffe.” (1 Yokaana 4:10) Ssaddaaka ya Yesu esobola okutusumulula okuva mu ebyo ebyava mu kibi ekisikire, era n’okutusobozesa okufuna ekyo Adamu ne Kaawa kye baafiirwa, nga ly’essuubi ery’okuba abalamu obulungi emirembe gyonna.—Yokaana 3:16. *

 Endowooza enkyamu ezikwata ku kibi Adamu ne Kaawa kye baakola

 Endowooza enkyamu: Olw’ekibi Adamu ne Kaawa kye baakola, tetusobola kuba na nkolagana nnungi ne Katonda.

 Ekituufu: Katonda tatunenya olw’ekyo Adamu ne Kaawa kye baakola. Akimanyi nti tetutuukiridde era tatusuubira kukola bisukka ku busobozi bwaffe. (Zabbuli 103:14) Wadde nga tubonaabona olw’ebyo ebyava mu kibi ekisikire, tulina enkizo ey’okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda.—Engero 3:32.

 Endowooza enkyamu: Okubatizibwa kutuggyako ekibi ekisikire, n’olwekyo abaana abato balina okubatizibwa.

 Ekituufu: Wadde ng’okubatizibwa mutendera mukulu nnyo omuntu okusobola okulokolebwa, okukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu kye kyokka ekisobola okunaazaako omuntu ebibi. (1 Peetero 3:21; 1 Yokaana 1:7) Olw’okuba okukkiriza okwa nnamaddala kwesigamye kukufuna okumanya, abaana abato tebasobola kuba na kukkiriza. N’olwekyo, Bayibuli tekubiriza kubatiza baana bato. Amazima ago Abakristaayo abasooka baali bagamanyi bulungi. Baabatizanga “abasajja n’abakazi” abaalina okukkiriza mu Kigambo kya Katonda, so si baana bato.—Ebikolwa 2:41; 8:12.

 Endowooza enkyamu: Katonda yakolimira abakazi olw’okuba Kaawa ye yasooka okulya ku kibala kye baabagaana.

 Ekituufu: Mu kifo ky’okukolimira abakazi, Katonda yakolimira “omusota ogw’edda oguyitibwa Omulyolyomi era Sitaani,” ogwasendasenda Kaawa okwonoona. (Okubikkulirwa 12:9; Olubereberye 3:14) Ate era, Katonda ekibi ekyakolebwa yakivunaana Adamu, so si mukazi we.—Abaruumi 5:12.

 Lwaki Katonda yagamba nti Adamu ajja kufuganga mukazi we? (Olubereberye 3:16) Mu kwogera bw’atyo, Katonda yali tawagira kikolwa ekyo. Wabula yali alaga bulazi ebizibu ebyandivudde mu kibi kye baakola. Katonda yeetaagisa abasajja okwagala bakazi baabwe n’okubawa ekitiibwa era n’okuwa abakazi bonna abalala ekitiibwa.—Abeefeso 5:25; 1 Peetero 3:7.

 Endowooza enkyamu: Ekibi Adamu ne Kaawa kye baakola kwali kwegatta.

 Ekituufu: Ekibi Adamu ne Kaawa kye baakola tekiyinza kuba kwegatta olw’ensonga zino wammanga:

  •   Katonda yalagira Adamu obutalya ku muti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi nga Adamu tannaba kufuna mukazi.—Olubereberye 2:17, 18.

  •   Katonda yagamba Adamu ne Kaawa nti, “muzaale mwale mujjuze ensi”—kwe kugamba, okuzaala abaana. (Olubereberye 1:28) Kyandibadde si kya bwenkanya Katonda okubabonereza olw’okukola ekyo kye yali abagambye okukola.

  •   Adamu ne Kaawa tebaayonoona mu kiseera kye kimu—Kaawa ye yasooka okwonoona ate oluvannyuma omwami we naye n’ayonoona.—Olubereberye 3:6.

  •   Bayibuli ekkiriza okwegatta wakati w’omusajja n’omukazi abafumbo.—Engero 5:18, 19; 1 Abakkolinso 7:3.

^ lup. 1 Abantu bangi balowooza nti ekibi Adamu ne Kaawa kye baakola kye kyali ekibi ekyasooka. Naye ekituufu kiri nti, ekibi ekisooka okwogerwako mu Bayibuli bwe bulimba Sitaani bwe yayogera eri Kaawa.—Olubereberye 3:4, 5; Yokaana 8:44.

^ lup. 3 Mu Bayibuli, ekigambo “ekibi” tekitegeeza kukola bibi byokka naye era kitegeeza obutali butuukirivu, oba ekibi kye twasikira.

^ lup. 5 Okumanya ebisingawo ebikwata ku ssaddaaka ya Yesu n’engeri gye tusobola okugiganyulwamu, laba ekitundu, “Yesu Alokola—Mu Ngeri Ki?