Buuka ogende ku bubaka obulimu

Njagala Kwetta—Bayibuli Esobola Okunnyamba Bwe Nfuna Ekirowoozo ky’Okwetta?

Njagala Kwetta—Bayibuli Esobola Okunnyamba Bwe Nfuna Ekirowoozo ky’Okwetta?

Bayibuli ky’egamba

 Yee! Bayibuli eva eri “Katonda abudaabuda abo abaweddemu amaanyi.” (2 Abakkolinso 7:6) Wadde nga Bayibuli si kitabo ekyogera ku bulwadde bw’obwongo, eyambye bangi okweggyamu ekirowoozo ky’okwagala okwetta. Amagezi g’ewa naawe gasobola okukuyamba.

 Magezi ki Bayibuli g’ewa?

  • Buulirako abalala engeri gye weewuliramu.

     Bayibuli ky’egamba: “Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ebbanga lyonna, era afuuka muganda wo mu biro eby’okulaba ennaku.”​—Engero 17:17.

     Kye kitegeeza: Twetaaga obuyambi bw’abalala bwe tuba tulina ebitweraliikiriza.

     Bw’otabuulirako balala ngeri gye weewuliramu, ebizibu biyinza okukuzitoowerera. Naye bw’obabuulirako osobola okukkakkana era n’oba n’endowooza ennuŋŋamu ku mbeera gy’olimu.

     Gezaako kino: Yogerako n’omuntu leero, oboolyawo omu ku b’eŋŋanda zo oba mukwano gwo gwe weesiga. * Ate era osobola n’okuwandiika engeri gye weewuliramu.

  • Funa obuyambi bw’omusawo.

     Bayibuli ky’egamba: “Abalamu tebeetaaga musawo; abalwadde be bamwetaaga.”​—Matayo 9:12.

     Kye kitegeeza: Bwe tuba abalwadde tusaanidde okugenda ew’omusawo okufuna obujjanjabi.

     Okuba n’ekirowoozo ky’okwetta kayinza okuba akabonero akalaga obulwadde bw’obwongo oba obw’okwennyamira. Ng’obulwadde obulala bwe butatukwasa nsonyi, ne buno tebusaanidde kutukwasa nsonyi. Obulwadde bw’obwongo n’obw’okwennyamira busobola okujjanjabibwa ne buwona.

     Gezaako kino: Funa obuyambi okuva eri omusawo amangu ddala nga bwe kisoboka.

  • Kijjukire nti Katonda akufaako.

     Bayibuli ky’egamba: “Enkazaluggya ttaano tezigula ssente bbiri ez’omuwendo omutono ennyo? Kyokka tewali n’emu ku zo Katonda gye yeerabira. . . . Temutya; muli ba muwendo nnyo okusinga enkazaluggya ennyingi.”​—Lukka 12:6, 7.

     Kye kitegeeza: Oli wa muwendo nnyo eri Katonda.

     Oyinza okuwulira ng’ali wekka, naye Katonda alaba by’oyitamu. Akufaako nnyo, wadde ng’owulira nti tokyayagala kuba mulamu. Zabbuli 51:17 wagamba nti: “Omutima ogumenyese era oguboneredde toogugayenga, Ai Katonda.” Katonda ayagala obe mulamu kubanga akwagala nnyo.

     Gezaako kino: Noonya obukakafu okuva mu Bayibuli obulaga nti Katonda akwagala nnyo. Ng’ekyokulabirako, laba essuula 24 ey’akatabo akeesigamiziddwa ku Bayibuli, Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa.

  • Saba Katonda.

     Bayibuli ky’egamba: ‘Katonda mumukwase byonna ebibeeraliikiriza kubanga abafaako.’​—1 Peetero 5:7.

     Kye kitegeeza: Katonda ayagala omubuulire engeri gye weewuliramu era n’ebyo byonna ebikweraliikiriza.

     Katonda asobola okukuwa emirembe mu mutima n’amaanyi n’osobola okugumira embeera gy’olimu. (Abafiripi 4:6, 7, 13) Bw’atyo bw’ayamba abo abamukoowoola abayambe.​—Zabbuli 55:22.

     Gezaako kino: Saba Katonda leero. Kozesa erinnya lye, Yakuwa, era omubuulire engeri gye weewuliramu. (Zabbuli 83:18) Musabe akuyambe weeyongere okuguma.

  • Fumiitiriza ku ssuubi Bayibuli ly’ewa erikwata ku biseera eby’omu maaso.

     Bayibuli ky’egamba: “Essuubi lye tulina liringa ennanga ey’obulamu, kkakafu era linywevu.”​—Abebbulaniya 6:19.

     Kye kitegeeza: Enneewulira yo eyinza okukyuka ng’eryato erisuukundibwa omuyaga, naye essuubi Bayibuli ly’ewa lisobola okukuyamba okuguma.

     Essuubi eryo si kirooto bulooto, naye lyesigamye ku kisuubizo kya Katonda eky’okuggyawo ebintu byonna ebituleetera obulumi.​—Okubikkulirwa 21:4.

     Gezaako kino: Yiga ebisingawo ebikwata ku ssuubi Bayibuli ly’ewa ng’osoma essomo 5 erya brocuwa, Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!

  • Kola ekintu ekikunyumira.

     Bayibuli ky’egamba: “Omutima omusanyufu ddagala ddungi.”​—Engero 17:22.

     Kye kitegeeza: Bwe tukola ebintu ebituleetera essanyu, kisobola okutuyamba okukkakkana mu birowoozo.

     Gezaako kino: Kola ekintu ekisinga okukunyumira. Ng’ekyokulabirako, wuliriza ennyimba ezizzaamu amaanyi, soma ekintu ekizzaamu amaanyi, oba kola ekintu ky’osinga okwagala. Ate era, ojja kweyongera okuba omusanyufu, singa obaako ky’okola okuyamba abalala ka kibe kitono.​—Ebikolwa 20:35.

  • Faayo ku bulamu bwo.

     Bayibuli ky’egamba: “Okutendeka omubiri kugasa.”​—1 Timoseewo 4:8.

     Kye kitegeeza: Tuganyulwa bwe tukola dduyiro, bwe twebaka ekimala, era bwe tulya emmere ey’omugaso eri omubiri gwaffe.

     Gezaako kino: Tambula ng’oyanguwa ne bwe kiba kumala ddakiika 15.

  • Kijjukire nti enneewulira n’ebintu ebirala mu bulamu bikyuka.

     Bayibuli ky’egamba: “Temumanyi kijja kutuuka ku bulamu bwammwe enkya.”​—Yakobo 4:14.

     Kye kitegeeza: Ekizibu kyonna, ka kibe ekyo ky’olaba nga tekisoboka kugonjoolwa, kisobola okuba ekya kaseera obuseera.

     Embeera k’ebeere nzibu etya gy’oli leero, esobola okukyuka enkya. N’olwekyo, noonya engeri gy’oyinza okugigumira. (2 Abakkolinso 4:8) Embeera enzibu gy’olimu esobola okukyuka essaawa yonna, naye bwe wetta tosobola kuzzaawo bulamu bwo.

     Gezaako kino: Soma ku bantu aboogerwako mu Bayibuli abaali abennyamivu nga baagala na kufa, olabe engeri obulamu bwabwe gye bwakyukamu ne butereera​—mu ngeri gye baali batayinza na kuteebereza. Lowooza ku byokulabirako bino.

 Bayibuli eyogera ku bantu abaali baagala okufa?

 Yee. Bayibuli etubuulira ebikwata ku bantu abamu abaali baagala okufa. Katonda teyabanenya naye yabawa obuyambi bwe baali beetaaga. Naawe asobola okukuyamba.

Eriya

  •  Yali ani? Eriya yali nnabbi muvumu. Naye ebiseera ebimu yaggwangamu amaanyi. Yakobo 5:17 wagamba nti: “Eriya yali muntu nga ffe.”

  •  Lwaki yali ayagala okufa? Lumu, Eriya yawulira ng’asigadde yekka, yalina okutya era ng’awulira ng’atalina mugaso. N’olwekyo, saba Katonda nti: “Yakuwa, ggyawo obulamu bwange.”​—1 Bassekabaka 19:4.

  •  Kiki ekyamuyamba? Eriya yasaba Katonda n’amubuulira engeri gye yali yeewuliramu. Katonda yamuzzaamu atya amaanyi? Katonda yalaga Eriya nti amufaako era n’amulaga n’amaanyi ge. Ate era yakakasa Eriya nti akyali wa mugaso era n’amuwa omuyambi afaayo era ow’amaanyi.

  •  Soma ebikwata ku Eriya: 1 Bassekabaka 19:2-18.

Yobu

  •  Yali ani? Yobu yali musajja mugagga era ng’alina amaka manene, era yaweereza n’obwesigwa Katonda ow’amazima.

  •  Lwaki yali ayagala okufa? Obulamu bwa Yobu bwakyuka mu kaseera katono n’afuna ebizibu bingi. Yafiirwa ebintu bye byonna. Abaana be bonna baafiira mu katyabaga. Yafuna obulwadde obw’amaanyi. Ku nkomerero, baamunenya mu ngeri etali ya kisa, era ne bamuwaayiriza nti alina ebibi bye yali akoze ne kimuviirako okufuna ebizibu bingi. Yobu yagamba nti: “Nneetamiddwa obulamu; sikyayagala kweyongera kuba mulamu.”​—Yobu 7:16.

  •  Kiki ekyamuyamba? Yobu yasaba Katonda era yayogerako n’abalala. (Yobu 10:1-3) Mukwano gwe Eriku eyali ow’ekisa yamuzzaamu amaanyi era n’amuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu. N’ekisinga byonna, yakkiriza okuwabula n’obuyambi Katonda bye yamuwa.

  •  Soma ebikwata ku Yobu: Yobu 1:1-3, 13-22; 2:7; 3:1-13; 36:1-7; 38:1-3; 42:1, 2, 10-13.

Musa

  •  Yali ani? Musa yali mukulembeze mu Isirayiri era yali nnabbi mwesigwa.

  •  Lwaki yali ayagala okufa? Musa yalina obuvunaanyizibwa bungi, baamwemulugunyangako nnyo, era yawulira ng’azitoowereddwa. N’olwekyo, yakaabirira Katonda nti: “Nkwegayiridde nzita kati.”​—Okubala 11:11, 15.

  •  Kiki ekyamuyamba? Musa yabuulira Katonda engeri gye yali yeewuliramu. Okusobola okukendeeza ku kweraliikirira Musa kwe yalina, Katonda yakendeeza ku buvunaanyizibwa bwe yali amuwadde.

  •  Soma ebikwata ku Musa: Okubala 11:4-6, 10-17.

^ lup. 5 Ekirowoozo ky’okwetta bwe kiba nga kya maanyi nnyo era ng’abantu be weesiga tebaliiwo, kuba ennamba y’essimu ey’abo abadduukirira abali mu buzibu.