Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ddala Bayibuli Eyigiriza nti Ensi ya Museetwe?

Ddala Bayibuli Eyigiriza nti Ensi ya Museetwe?

Bayibuli ky’egamba

 Nedda, Bayibuli teyigiriza nti ensi ya museetwe. * Bayibuli si kitabo kya ssaayansi. Kyokka, tewakanya ebyo bannasayansi bye bazudde ne bikakasibwa nti bituufu. Bayibuli by’eyogera “byesigika kaakano era n’emirembe n’emirembe.”—Zabbuli 111:8.

 Bayibuli bw’eyogera ku “nsonda ennya ez’ensi” eba etegeeza ki?

 Ebigambo ‘ensonda ennya ez’ensi’ ne “ku nkomerero y’ensi” ebikozesebwa mu Bayibuli tebitegeeza nti ensi erina ensonda oba nti erina w’ekoma. (Isaaya 11:12; Yobu 37:3) Mu kifo ky’ekyo, ebigambo ebyo bya kabonero era bitegeeza ensi yonna. Bayibuli era ekozesa “ebuvanjuba n’ebugwanjuba, ne mu bukiikakkono, ne mu bukiikaddyo” okutegeeza ensi yonna. —Lukka 13:29.

 Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa ‘ensonda’ oba ‘enkomerero’ kirabika kisoko ekiva mu kigambo ekitegeeza “ebiwaawaatiro.” Okusinziira ku kitabo ekiyitibwa The International Standard Bible Encyclopedia, “olw’okuba ekinyonyi kikozesa ekiwaawaatiro kyakyo okubikka obwana bwakyo, [ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyo] kitegeeza ekintu kyonna ekigazi.” Ekitabo ekyo era kigamba nti mu Yobu 37:3 ne Isaaya 11:12, “ekigambo ekyo kitegeeza embalama, ensalo, oba ekitundu eky’ewala ennyo ku nsi.” *

 Ate Sitaani bwe yali akema Yesu?

 Sitaani bwe yali akema Yesu, ‘yamutwala ku lusozi oluwanvu ennyo, n’amulaga obwakabaka bwonna obw’omu nsi n’ekitiibwa kyabwo.’ (Matayo 4:8) Abamu bagamba nti ekyawandiikibwa ekyo kiraga nti ensi ya museetwe era nti osobola okugiraba yonna ng’osinziira mu kifo kimu. Kyokka, ‘olusozi oluwanvu ennyo’ olwogerwako mu kyawandiikibwa ekyo lwa kabonero si lwa ddala. Lowooza ku nsonga lwaki kiri bwe kityo.

  •   Ku nsi tewali lusozi lw’oyinza kuyimirirako n’olaba obwakabaka bwonna obw’omu nsi.

  •   Sitaani teyalaga Yesu bwakabaka bwokka, naye yamulaga “n’ekitiibwa kyabwo.” Ebyo byonna tosobola kubiraba ng’oli wala nnyo, bwe kityo Sitaani ayinza okuba nga yalaga Yesu ebintu ebyo byonna mu kwolesebwa. Ekyo kifaananako omuntu akozesa projekita okulaga ebifaananyi by’ebitundu by’ensi eby’enjawulo ku lutimbe.

  •   Lukka 4:5 wagamba nti Sitaani yalaga Yesu obwakabaka bwonna obw’omu nsi “mu kaseera katono,” ekitasoboka mu mbeera eza bulijjo. Ekyo kiraga nti ebintu ebyo Yesu teyabiraba na maaso ge, wabula Sitaani yabimulaga mu kwolesebwa.

^ lup. 1 Bayibuli eyogera ku Katonda ng’oyo “abeera waggulu w’ensi enneetooloovu.”—Isaaya 40:22.

^ lup. 3 Revised Edition, Omuzingo 2, olupapula 4.