Buuka ogende ku bubaka obulimu

Lwaki Waaliwo Ekitta Bantu? Lwaki Katonda Teyakiziyiza?

Lwaki Waaliwo Ekitta Bantu? Lwaki Katonda Teyakiziyiza?

 Abantu bangi ababuuza ebibuuzo bino baba bafiiriddwa abantu baabwe era baba tebanoonya byakuddamu kyokka naye era baba baagala kubudaabudibwa. Abalala ekitta bantu bakitwala ng’ekintu ekisingayo obubi omuntu ky’ayinza okukola, era kifuuka kizibu gye bali okukkiriza nti Katonda gyali.

Endowooza enkyamu ezikwata ku Katonda ne ku kitta bantu

 Endowooza enkyamu: Kikyamu okubuuza ensonga lwaki Katonda yakkiriza ekitta bantu okubaawo.

 Ekituufu: Abantu abalina okukkiriza okw’amaanyi baabuuza ensonga lwaki Katonda akkiriza ebintu ebibi okubaawo. Ng’ekyokulabirako, nnabbi Kaabakuuku yabuuza Katonda nti: “Lwaki ondeka okulaba ebikolwa ebibi? Era lwaki ogumiikiriza ebikolwa eby’okubonyaabonya abalala? Lwaki okuzikiriza n’ebikolwa eby’obukambwe biri mu maaso gange?” (Kaabakuuku 1:3) Mu kifo ky’okunenya Kaabakuuku, Katonda yakkiriza ebibuuzo bye okuwandiikibwa mu Bayibuli ffenna tusobole okubisoma.

 Endowooza enkyamu: Katonda tafaayo ku kubonaabona kw’abantu.

 Ekituufu: Katonda akyawa ebikolwa ebibi n’okubonaabona okubivaamu. (Engero 6:16-19) Mu kiseera kya Nuuwa, Katonda ‘yanakuwala mu mutima gwe’ olw’ebikolwa eby’obukambwe ebyali biyitiridde mu nsi. (Olubereberye 6:5, 6) Tewali kubuusabuusa nti Katonda yalumwa nnyo olw’ekitta bantu ekyaliwo.—Malaki 3:6.

 Endowooza enkyamu: Ekitta bantu kyaliwo kubanga Katonda yali abonereza Abayudaaya.

 Ekituufu: Katonda yaleka Abaruumi ne bazikiriza ekibuga Yerusaalemi mu kyasa ekyasooka. (Matayo 23:37–24:2) Kyokka okuva olwo, Katonda talina ggwanga ly’abonereza oba ly’awagira mu ntalo. Mu maaso ga Katonda, ‘tewali njawulo wakati wa Muyudaaya na wa ggwanga ddala.’—Abaruumi 10:12, Bayibuli y’Oluganda eya 2003.

 Endowooza enkyamu: Singa waaliwo Katonda alina okwagala n’amaanyi, yandibadde aziyiza ekitta bantu.

 Ekituufu: Wadde nga Katonda si y’aleeta okubonaabona, ebiseera ebimu akuleka ne kubaawo.—Yakobo 1:13; 5:11.

Lwaki Katonda yaleka ekitta bantu okubaawo?

 Ensonga lwaki Katonda yaleka ekitta bantu okubaawo ye nsonga y’emu lwaki alese okubonaabona okubaawo. Ekyo yakikola okugonjoola ensonga eyabalukawo edda ennyo. Bayibuli ekiraga bulungi nti Sitaani y’afuga ensi, so si Katonda. (Lukka 4:1, 2, 6; Yokaana 12:31) Wadde nga waliwo ekitundu ekirala ekinnyonnyola mu bujjuvu ensonga lwaki Katonda aleseewo okubonaabona, waliwo ensonga bbiri okuva mu Bayibuli ezisobola okutuyamba okumanya lwaki Katonda yaleka ekitta bantu okubaawo.

  1.   Katonda yatonda abantu nga balina eddembe ery’okwesalirawo. Katonda yategeeza abantu abaasooka, Adamu ne Kaawa, bye yali ayagala bakole, naye teyabakaka kumugondera. Baalondawo okwesalirawo ekituufu n’ekikyamu, era okusalawo kwabwe okubi awamu n’ebyo abantu bye bazze basalawo okumala ebyasa by’emyaka bireetedde abantu bonna abali ku nsi ebizibu. (Olubereberye 2:17; 3:6; Abaruumi 5:12) Ekyo kikwatagana n’ebyo ebiri mu kitabo Statement of Principles of Conservative Judaism ebigamba nti: “Okubonaabona kungi okuliwo leero mu nsi kuva ku kukozesa bubi eddembe ery’okwesalirawo eryatuweebwa.” Mu kifo ky’okutuggyako eddembe lyaffe ery’okwesalirawo, Katonda awadde abantu ekiseera okwefuga ku lwabwe.

  2.   Katonda asobola era ajja kumalawo ebizibu byonna ebireeteddwa ekitta bantu. Katonda asuubizza okuzuukiza obukadde n’obukadde bw’abantu nga mw’otwalidde n’abo abaafiira mu kitta bantu. Ate era ajja kuggyawo obulumi abo abaawonawo mu kitta bantu bwe balina olw’okulaba abantu baabwe nga battibwa. (Isaaya 65:17; Ebikolwa 24:15) Olw’okuba Katonda ayagala nnyo abantu, ajja kutuukiriza ebisuubizo ebyo.—Yokaana 3:16.

 Bangi ku abo abaakosebwa n’abo abaawonawo mu kitta bantu baasobola okukuuma okukkiriza kwabwe n’okuba n’ekigendererwa mu bulamu, olw’okuba baategeera ensonga lwaki Katonda alese ebintu ebibi okubaawo era n’engeri gy’ajja okubimalawo.