Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ddala Maliyamu Maama wa Katonda?

Ddala Maliyamu Maama wa Katonda?

Bayibuli ky’egamba

 Nedda, Bayibuli teyigiriza nti Maliyamu maama wa Katonda, era teragira Bakristaayo kusinza Maliyamu * oba kumugulumiza. Lowooza ku bino:

  •   Maliyamu teyagambako nti yali maama wa Katonda. Bayibuli eraga nti Maliyamu yazaala ‘Mwana wa Katonda,’ so si Katonda kennyini.—Makko 1:1; Lukka 1:32.

  •   Yesu Kristo teyagambako nti Maliyamu yali maama wa Katonda oba nti asaanidde okusinzibwa. Mu butuufu omukazi omu bwe yagamba Yesu nti: “Alina essanyu omukazi eyakuzaala era eyakuyonsa,” Yesu yamuddamu nti: “Nedda, abalina essanyu beebo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako!”—Lukka 11:27, 28.

  •   Ebigambo “Maama wa Katonda” ne “Theotokos” (Eyasitula Katonda) tebisangibwa mu Bayibuli.

  •   “Nnaabakyala w’Eggulu” ayogerwako mu Bayibuli si ye Maliyamu, wabula yali katonda ow’obulimba Abayisirayiri abajeemu gwe baali basinza. (Yeremiya 44:15-19) “Nnaabakyala w’Eggulu” oyo ayinza okuba nga yali katonda omukazi ow’Abababulooni ayitibwa Ishtar (Astarte).

  •   Abakristaayo abaasooka tebaasinza Maliyamu, era tebaamuwa kitiibwa kya njawulo. Mu kitabo ekiyitibwa In Quest of the Jewish Mary, munnabyafaayo omu yagamba nti Abakristaayo abaasooka “beewalanga nnyo okusinza okw’obulimba era bayinza okuba nga baatya okuwa Maliyamu ekitiibwa eky’enjawulo olw’okuba kyandireetedde abantu okulowooza nti bamusinza.”

  •   Bayibuli egamba nti Katonda abaddewo emirembe n’emirembe. (Zabbuli 90:1, 2; Isaaya 40:28) Olw’okuba Katonda talina ntandikwa, tasobola kuba ng’alina nnyina. Ate era, Maliyamu yali tayinza kusitula Katonda mu lubuto lwe, kubanga Bayibuli eraga nti n’eggulu Katonda taligyaamu.—1 Bassekabaka 8:27.

Maliyamu Maama wa Yesu, so si “Maama wa Katonda”

 Maliyamu yali Muyudaaya, era yali ava mu lunyiriri lwa Kabaka Dawudi. (Lukka 3:23-31) Katonda yamusiima olw’okuba yalina okukkiriza okw’amaanyi. (Lukka 1:28) Era eyo ye nsonga lwaki yamulonda okuba maama wa Yesu. (Lukka 1:31, 35) Maliyamu yazaala abaana abalala mu mwami we Yusufu.—Makko 6:3.

 Wadde nga Bayibuli eraga nti Maliyamu yafuuka Omuyigirizwa wa Yesu, terina bingi by’emwogerako.—Ebikolwa 1:14.

^ lup. 1 Amadiini agatali gamu gayigiriza nti Maliyamu maama wa Katonda. Oluusi gamuyita “Nnaabakyala w’Eggulu” oba Theotokos, ekigambo ky’Oluyonaani ekitegeeza oyo “Eyasitula Katonda.”