Buuka ogende ku bubaka obulimu

Yakuwa y’Ani?

Yakuwa y’Ani?

Bayibuli ky’egamba

 Bayibuli eraga nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima eyatonda ebintu byonna. (Okubikkulirwa 4:11) Ye Katonda nnabbi Ibulayimu ne Musa gwe baasinzanga, era ne Yesu gwe yasinzanga. (Olubereberye 24:27; Okuva 15:1, 2; Yokaana 20:17) Si Katonda wa bantu bamu na bamu, wabula ye Katonda ‘ow’ensi yonna.’​—Zabbuli 47:2.

 Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda. (Okuva 3:15; Zabbuli 83:18) Erinnya eryo liva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza “okuba,” era abeekenneenya ba Bayibuli bangi bagamba nti litegeeza nti: “Aleetera Ebintu Okubaawo.” Amakulu ago gatuukana bulungi n’ekyo Yakuwa ky’ali ng’Omutonzi era oyo atuukiriza ebigendererwa bye. (Isaaya 55:10, 11) Bayibuli era etuyamba okumanya engeri za Yakuwa, naddala engeri ye esinga obukulu, ey’okwagala.​—Okuva 34:5-7; Lukka 6:35; 1 Yokaana 4:8.

 Erinnya lya Katonda erikiikirirwa ennukuta ennya ez’Olwebbulaniya יהוה (YHWH), mu Luganda lyavvuunulwa nti, Yakuwa. Engeri erinnya eryo gye lyayatulwangamu mu Lwebbulaniya olw’edda temanyiddwa. Kyokka erinnya Yakuwa lisangibwa mu Bayibuli ezitali zimu, era liri ne mu Bayibuli y’Oluganda eyavvuunulwa mu 1968.

Lwaki engeri erinnya lya Katonda gye lyayatulwangamu mu Lwebbulaniya olw’edda temanyiddwa?

 Olwebbulaniya olw’edda lwawandiikibwanga na nnukuta nsirifu zokka, nga tebakozesa njatuza. Omusomi w’Olwebbulaniya yali asobola okweteeramu ennukuta enjatuza we zaabanga zeetaagisa. Kyokka Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya oba (“Endagaano Enkadde”) bwe byamala okuwandiikibwa, Abayudaaya abamu baafuna endowooza etali ntuufu nti kikyamu okwatula erinnya lya Katonda. Bwe baasomanga ekyawandiikibwa ekyabangamu erinnya lya Katonda, mu kifo we lyabanga baateekangawo ekigambo “Mukama” oba “Katonda.” Endowooza eyo yeeyongera okusaasaana, era oluvannyuma lw’ekiseera abantu baali tebakyamanyi ngeri erinnya lya Katonda gye lyayatulwangamu. *

 Abamu balowooza nti erinnya lya Katonda lyayatulwanga nti “Yawe,” ate abalala balina endowooza ezaawukana kw’eyo. Mu Muzingo gw’Ennyanja Enfu omwali ekitundu ky’ekitabo ky’Eby’Abaleevi ekyavvuunulwa mu Luyonaani, erinnya lya Katonda lyali lyavvuunulwa nti Yawe. Ate abamu ku bawandiisi b’Oluyonaani ab’edda baali balowooza nti erinnya eryo liyinza okuba nga lyayatulwanga nti Yaye, Yabe, ne Yowe. Naye tewali n’emu ku njatula ezo ekakasibwa nti ye ngeri entuufu erinnya lya Katonda gye lyayatulwangamu mu Lwebbulaniya olw’edda. *

Endowooza enkyamu mu kukozesa erinnya lya Katonda mu Bayibuli

 Endowooza enkyamu: Mu nkyusa za Bayibuli omuli erinnya “Yakuwa” abavvuunuzi be baalyongeramu.

 Ekituufu: Erinnya lya Katonda erikiikirirwa ennukuta ennya ez’Olwebbulaniya, lirabika emirundi nga 7,000 mu Bayibuli. * Mu nkyusa za Bayibuli ezisinga obungi erinnya lya Katonda lyaggibwamu, mu kifo we lyali ne bateekawo ebitiibwa, gamba nga, “Mukama.”

 Endowooza enkyamu: Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna teyeetaaga kuba na linnya limwawulawo.

 Ekituufu: Katonda kennyini ye yaluŋŋamya abawandiisi ba Bayibuli okukozesa erinnya lye emirundi nkumi na nkumi, era ayagala abo abamusinza bakozese erinnya lye. (Isaaya 42:8; Yoweeri 2:32; Malaki 3:16; Abaruumi 10:13) Mu butuufu, Katonda yanenya bannabbi ab’obulimba abaagezaako okuleetera abantu okwerabira erinnya lye.​—Yeremiya 23:27.

 Endowooza enkyamu: Okusinziira ku kalombolombo k’Abayudaaya, erinnya lya Katonda lirina okuggibwa mu Bayibuli.

 Ekituufu: Kyo kituufu nti abakoppolozi abamu Abayudaaya tebaayatulanga linnya lya Katonda. Kyokka, tebaaliggya mu Bayibuli. Ate era Katonda tayagala tugoberere bulombolombo bw’abantu obukontana n’amateeka ge.​—Matayo 15:1-3.

 Endowooza enkyamu: Erinnya lya Katonda teririna kukozesebwa mu Bayibuli, kubanga engeri gye lyayatulwangamu mu Lwebbulaniya temanyiddwa.

 Ekituufu: Abalina endowooza eyo basuubira nti Katonda ayagala abantu aboogera ennimi ez’enjawulo baatule erinnya lye mu ngeri y’emu. Kyokka Bayibuli eraga nti abaweereza ba Katonda ab’edda abaayogeranga ennimi ez’enjawulo baayatulanga amannya agamu mu ngeri za njawulo.

 Lowooza ku Yoswa, eyaliko omulamuzi mu Isirayiri ey’edda. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka abaayogeranga Olwebbulaniya bayinza okuba nga baayatulanga erinnya lye nti Yehoh·shuʹaʽ, ate abo abaayogeranga Oluyonaani bayinza okuba nga baalyatulanga nti I·e·sousʹ. Abavvuunula Bayibuli mu Luyonaani baakozesa erinnya lya Yoswa nga bwe lyali lyatulwa mu Luyonaani, ekiraga nti Abakristaayo Abayonaani baayatulanga erinnya eryo nga bwe lyali lyatulwa mu lulimi lwabwe.​—Ebikolwa 7:45; Abebbulaniya 4:8.

 Enkola y’emu esobola okugobererwa mu kuvvuunula erinnya lya Katonda. Ekisinga obukulu si kwe kumanya engeri yennyini erinnya eryo gye lyayatulwangamu, wabula kwe kuliteeka mu bifo we lirina okubeera mu Bayibuli.

^ lup. 4 Ekitabo New Catholic Encyclopedia, Eky’Okubiri, Omuzingo 14, olupapula 883-884, kigamba nti: “Nga wayiseewo ekiseera oluvannyuma lw’Abayudaaya okuva mu Buwaŋŋanguse, erinnya Yawe ly’atandika okutwalibwa ng’ery’ekitiibwa ennyo era nti teririna na kwatulwa, era mu kifo kyalyo baatandika okukozesa ekigambo ADONAI oba ELOHIM.”

^ lup. 5 Okumanya ebisingawo, laba ebyongerezeddwako A4, “Erinnya lya Katonda mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya,” mu Enkyusa ey’Ensi Empya.

^ lup. 7 Laba Theological Lexicon of the Old Testament, Omuzingo 2, olupapula 523-524.