Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kuuma Ebirowoozo Byo

Kuuma Ebirowoozo Byo

Wanula:

  1. 1. Njagal’o kukusanyusa

    Naye muli mu mutima—

    Wabaawo lwe ndowooza,

    Nti nja kulemererwa.

    Kyokka nfuba okusaba,

    Kubanga wasubizo ’kunnyamba.

    Bwe nneeraliikirira,

    Yakuwa ye ggwe aŋŋamba

    (CHORUS)

    Nkuum’o mutima n’ebirowoozo,

    Nneemalire ku binzimba.

    Ebintw’e bimalamw’a maanyi.

    Nja kubyewala nfune ’mirembe.

  2. 2. Njagal’o kukusanyusa,

    Nay’o lumu nnennyamira,

    ’Lw’okuba ndowooza nti

    Sigwana mu maaso go.

    Kyokka nfub’o kubuulira

    Abalala ku bisuubizo byo.

    Nja kwonger’o kufuba.

    Yakuwa nkusab’o nnyambe.

    (CHORUS)

    Nkuum’o mutima n’ebirowoozo,

    Nneemalire ku binzimba.

    Ebintw’e bimalamw’a maanyi.

    Nja kubyewala nfune ’mirembe.

    Emirembe.

    (BRIDGE)

    Ka nneesambe ’birowoozo

    ebikyamu ebinzijira—

    Sisaanidde kuterebuka.

    Yakuwa ye ggwe bulijjo annyamba nze.

    Ye ggwe annyamba nze.

  3. (CHORUS)

  4. Nkuum’o mutima n’ebirowoozo,

  5. Nneemalire ku binzimba.

  6. Ebintw’e Ebintw’e bimalamw’a maanyi.

  7. Nja kubyewala nfune ’mirembe.