Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 10

Tendereza Yakuwa Katonda Waffe!

Tendereza Yakuwa Katonda Waffe!

(Zabbuli 145:12)

  1. 1. Tendanga Katonda waffe!

    Langirira erinnya lye!

    Yogera ku lunaku lwe

    Kuba lunaater’o kutuuka.

    Kye kiseera ’Mwana wa Katonda

    Afuge ’nsi nga Kabaka.

    Kirangirire bonna bamanye

    Ebirungi by’anaakola.

    (CHORUS)

    Tendanga Katonda waffe!

    Manyisanga ekitiibwa kye!

  2. 2. Tendanga Katonda waffe!

    Tendereza erinnya lye!

    ’Ttendo lye lisukkulumye;

    Tulimanyise n’obuvumu.

    Wadde ekitiibwa kye kingi nnyo

    Afaayo ku bantu bonna.

    Alaga ekisa n’okwagala;

    Awulira bwe tusaba.

    (CHORUS)

    Tendanga Katonda waffe!

    Manyisanga ekitiibwa kye!