Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 18

Tusiima Ekirabo ky’Ekinunulo

Tusiima Ekirabo ky’Ekinunulo

(Lukka 22:20)

  1. 1. Yakuwa Katonda

    tuli mu maaso go,

    Kubanga watulaga

    ’kwagala kungi nnyo.

    Wawaayo ’Mwana wo

    gw’oyagala ennyo.

    Eyo ye ssaddaaka

    esingayo ’muwendo.

    (CHORUS)

    Yesu yatufiiririra

    Tusobol’o kununulwa.

    Okuviira

    ddala ku mutima, tukwebaza.

  2. 2. Ne Yesu kyeyagalire

    yakkiriza

    ’Kuwaayo ’bulamu bwe

    kuba yatwagala.

    Tulina essuubi

    ekkakafu ddala

    Ery’okubeera ’balamu

    ’mirembe gyonna.

    (CHORUS)

    Yesu yatufiiririra

    Tusobol’o kununulwa.

    Okuviira

    ddala ku mutima, tukwebaza.