Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 29

Okutuukana n’Erinnya Lyaffe

Okutuukana n’Erinnya Lyaffe

(Isaaya 43:10-12)

  1. 1. Ai Yakuwa, ’muyinza wa byonna,

    Ow’obwenkanya, ow’okwagala.

    Ggwe wa mazima er’o w’amagezi,

    Ggwe Mufuzi waggulu mu ggulu.

    Tuli basanyufu ffe ng’abantu bo;

    Tubuulira Obwakabaka bwo.

    (CHORUS)

    Ng’Abajulirwa bo tulin’e nkizo;

    Tutuukanenga n’erinnya lyaffe.

  2. 2. ’Kukolera ’wamu mu buweereza

    Kinyweza nnyo okwagala kwaffe.

    ’Kumanyisa ’mazima n’ettendo lyo

    Kituleetera essanyu lingi.

    Kitaffe, tuyitibwa erinnya lyo;

    Tulin’o kuliwees’e kitiibwa.

    (CHORUS)

    Ng’Abajulirwa bo tulin’e nkizo;

    Tutuukanenga n’erinnya lyaffe.