Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 68

Okusiga Ensigo y’Obwakabaka

Okusiga Ensigo y’Obwakabaka

(Matayo 13:4-8)

  1. 1. Mujje tukole omulimu

    Gwa Mukama waffe Yesu.

    Guno ’mulimu gwa kusiga

    Ensigo y’Obwakabaka.

    Omutima gw’omuntu bwe guba

    Mulungi ’nsigo ekula.

    Kal’o mulimu gwa Mukama waffe

    Gukolenga n’obunyiikivu.

  2. 2. Bonna b’otuusaako ’bubaka

    Beetaaga obuyambi bwo

    Okusobola okuyiga

    N’okwagala amazima.

    Bafengako nnyo; baddiŋŋanenga

    Basobole okunywera.

    Ojja kusanyuk’o kulab’e nsigo

    Ezo nga zigenda zimera.