Komawo eri Yakuwa

Yakuwa anoonya endiga ze ezibuze, era akusaba okomewo gy’ali.

Ebbaluwa Okuva eri Akakiiko Akafuzi

Ebbaluwa eno okuva eri Akakiiko Akafuzi obubaka obugirimu bw’abo bonna abaawaba okuva mu kisibo kya Katonda.

EKITUNDU 1

“Ebuze Nja Kuginoonya”

Ddala Katonda akitwala nti endiga bw’ebula eba tesobola kukomawo gy’ali?

EKITUNDU 2

Okweraliikirira​—“Tunyigirizibwa mu Buli Ngeri”

Bw’oba oli mweraliikirivu olw’okuba tokyasobola kuweereza Katonda mu bujjuvu nga bwe wakolanga edda, waliwo amagezi agasobola okukuyamba.

EKITUNDU 3

Ebitunyiiza​—Bwe Tuba ‘n’Ensonga ku Munnaffe’

Emisingi esatu egiri mu Bayibuli gisobola okukuyamba mukkiriza munno bw’aba yakola ekintu ekyakunyiiza.

EKITUNDU 4

Omutima Okukulumiriza​—“Nnaazaako Ekibi Kyange”

Osobola otya okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo?

EKITUNDU 5

Komawo eri ‘Omusumba era Omulabirizi w’Obulamu Bwo’

Bwe mba njagala okukomawo eri Yakuwa, ntandikire wa? Ab’oluganda mu kibiina banannyaniriza?

Okufundikira

Otera okujjukira ebiseera eby’essanyu bye walina ng’okyali wamu n’abantu ba Yakuwa?