Buuka ogende ku bubaka obulimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU

Engeri gy’Oyinza Okukozesa Obulungi Ebiseera Byo

Engeri gy’Oyinza Okukozesa Obulungi Ebiseera Byo

“Singa nnali nsobola okwongezaayo ebiseera!” Ebigambo ebyo obyogedde emirundi emeka? Ebiseera kye kimu ku bintu ebiraga nti abantu bonna benkana; abagagga n’abaavu, bonna balina ebiseera bye bimu. Ebiseera bye tufiirwa tetusobola kubizzaawo. N’olwekyo kya magezi okukozesa obulungi ebiseera byaffe. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Weetegereze ebintu bya mirundi ena ebiyambye abantu bangi okukozesa obulungi ebiseera byabwe.

Ekintu Ekisooka: Ba n’Enteekateeka Ennungi

Manya by’osaanidde okukulembeza. Bayibuli egamba nti: ‘Mumanye ebintu ebisinga obukulu.’ (Abafiripi 1:10) Kola olukalala lw’ebintu ebikulu oba olw’ebintu ebyetaaga okukolebwa amangu ng’okijjukira nti oluusi ebintu ebikulu gamba ng’okugula emmere ey’okulya ekyeggulo, biyinza obuteetaagisa kukolebwa mu bwangu. Ate oluusi ebintu ebyetaaga okukolebwa mu bwangu, gamba ng’okulaba programu emu eya Ttivi, biyinza obutaba bikulu. *

Teekateeka nga bukyali. Omubuulizi 10:10 wagamba nti: “Embazzi bw’eba terina bwogi n’etawagalwa, agikozesa alina okukozesa amaanyi mangi, naye amagezi gayamba omuntu okutuuka ku buwanguzi.” Kiki kye tuyiga mu lunyiriri olwo? Wagala embazzi yo, kwe kugamba, teekateeka nga bukyali, osobole okukozesa obulungi ebiseera byo. Ebintu ebitali bikulu sooka obizze ebbali oba tobikolera ddala, kubanga biba bikumalira biseera na maanyi. Bwe kiba nti ekintu ky’obadde okola okimaze mangu, nga n’obudde bwe wabadde oteeseteese okukikoleramu tebunaggwayo, osobola okukola n’ekirala kye wabadde oteeseteese okukola oluvannyuma. Bw’oteekateeka nga bukyali, osobola okukola ebintu bingi mu kiseera kitono, okufaananako omuntu akozesa embazzi ewagaddwa.

Teweetuumako bya kukola bingi. Ebintu ebitali bikulu ebikumalira obumalizi obudde byerekereze. Bw’obeera n’eby’okukola ebingi ennyo kiyinza okukuviirako okukoowa ennyo, n’okuggweebwako essanyu.

Ekintu eky’Okubiri: Weewale Ebintu Ebyonoona Ebiseera

Okugenda ng’oyongezaayo ekiseera w’onookolera ekintu, n’obutasalawo. Omubuulizi 11:4 wagamba nti: “Atunuulira embuyaga talisiga, n’oyo atunuulira ebire talikungula.” Olunyiriri olwo lutuyigiriza ki? Okugenda ng’oyongezaayo ekiseera w’onookolera ekintu, kyonoona ebiseera era kikuviirako obutakola bulungi kintu. Omulimi alindirira buli kimu kitereere, ayinza obutasiga oba obutakungula. Mu ngeri y’emu, tuyinza okuleka embeera ze twolekagana nazo mu bulamu okutuleetera obutasalawo. Oba tuyinza okuwulira nti tulina okusooka okubeera na buli kimu kye twetaaga okusobola okusalawo ku nsonga emu. Kyo kituufu nti twetaaga okunoonyereza n’okufuba okusobola okusalawo obulungi ku bintu ebikulu. Engero 14:15 wagamba nti: “Omuntu ow’amagezi afumiitiriza ku buli ky’agenda okukola.” Ekituufu kiri nti ebintu bingi bye tusalawo tebitera kuba nga bwe tubisuubira.​—Omubuulizi 11:6.

Okusuubira okukola ebintu mu ngeri etuukiridde. Yakobo 3:17 wagamba nti: “Amagezi agava waggulu [oba agava eri Katonda] . . . si makakanyavu.” Kya lwatu nti kirungi nnyo okukola ebintu ebiri ku mutindo ogwa waggulu! Kyokka oluusi tuyinza okussaawo emitindo egya waggulu ennyo gye tutasobola kutuukako, ekiyinza okutumalako essanyu oba okutuviirako okulemererwa okutuukiriza kye twagala. Ng’ekyokulabirako, omuntu ayiga olulimi olulala alina okukimanya nti ajja kukola ensobi, era nti ajja kuyigira ku nsobi ezo. Kyokka omuntu asuubira okuba nti buli ky’akola kirina okuba nga kituukiridde, atya okukola ensobi era ekyo kimulemesa okuyiga. Nga kikulu nnyo okumanya obusobozi bwaffe we bukoma ne tutasuubira nti tujja kukola bituufu byereere! Engero 11:2 wagamba nti: “Abeetoowaze baba ba magezi.” Abantu abeetoowaze era abamanyi obusobozi bwabwe we bukoma, tebakitwala nti tebasobola kukola nsobi.

“Sente si z’okozesa okusasula ebintu, wabula obisasula ng’okozesa ebiseera.”​—Kyaggibwa mu kitabo, What to Do Between Birth and Death

Ekintu eky’Okusatu: Togwa Lubege

Ssaawo Ebiseera eby’Okukola n’Okuwummula. Omubuulizi 4:6 wagamba nti: “Olubatu lumu olw’okuwummula lusinga embatu bbiri ez’okukola ennyo era n’okugoba empewo.” Abantu abakola ennyo awatali kuwummula, tebeeyagalira mu bibala ebiva mu ‘mbatu zaabwe ebbiri ez’okukola ennyo.’ Tebaba na biseera wadde amaanyi okubyeyagaliramu. Ku luuyi olulala, omuntu omugayaavu yeemalira ku ‘mbatu ebbiri’ ez’okuwummula, bw’atyo n’ayonoona ebiseera mwe yandikoledde ebintu eby’omugaso. Bayibuli etukubiriza obutagwa lubege. Etukubiriza okukola ennyo n’okweyagalira mu ebyo ebiva mu bye tukola. Okweyagalira mu ebyo ebiva mu bye tukola “kirabo ekiva eri Katonda.”​—Omubuulizi 5:19.

Weebake ekimala. Omuwandiisi omu owa Bayibuli yagamba nti: “Nja kugalamira nneebake mirembe.” (Zabbuli 4:8) Abantu abakulu abasinga obungi beetaaga okwebaka essaawa nga munaana, omubiri okusobola okwezza obuggya n’okukola obulungi. Omuntu bwe yeebaka ekimala, kimuyamba okukozesa obulungi ebiseera bye, kubanga aba asobola okussaayo omwoyo ku by’akola era n’okujjukira obulungi, bw’atyo n’aba ng’asobola okuyiga obulungi. Ku luuyi olulala, omuntu bw’ateebaka kimala kiyinza okumuviirako obutayiga bulungi, okukola obubenje, n’okunyiiganyiiga.

Tosuubira bitasoboka. Omubuulizi 6:9 wagamba nti: “Okusanyusibwa ebintu amaaso bye galabako kisinga okwegomba ebintu by’otayinza kufuna.” Olunyiriri olwo lutuyigiriza ki? Omuntu ow’amagezi takkiriza kufugibwa kwegomba, naddala okwegomba ebintu by’atasobola kufuna oba okutuukako. N’olwekyo, tatwalirizibwa bulango bukubibwa. Mu kifo ky’ekyo, aba mumativu n’ebyo “amaaso bye galabako,” kwe kugamba, ebyo by’asobola okufuna.

Ekintu eky’Okuna: Tambuliza Obulamu Bwo ku Mitindo Emirungi egy’Empisa

Lowooza ku mitindo gy’empisa gy’ogoberera. Emitindo gy’empisa kw’otambulira gikuyamba okumanya ebirungi, ebikulu, n’ebisaanira. Singa obulamu bwo bwali kasaale, emitindo gy’empisa kw’otambulira gye gyandibadde girasa akasaale ako. Emitindo emirungi egy’empisa gikuyamba okukulembeza ebintu ebisinga obukulu, n’okukozesa obulungi ebiseera byo buli lunaku. Wa w’oyinza okuggya emitindo gy’empisa ennungi? Abantu bangi bakolera ku ebyo Bayibuli by’egamba, kubanga bakirabye nti erimu amagezi amalungi.​—Engero 2:6, 7.

Laga abalala okwagala. Abakkolosaayi 3:14 wagamba nti: ‘Okwagala kwe kunywereza ddala obumu.’ Tetusobola kuba na ssanyu lya nnamaddala bwe tuba nga tetulaga balala kwagala, naddala ab’omu maka gaffe. Abantu abatalaga balala kwagala olw’okukulembeza eby’obugagga, oba emirimu, tebaba basanyufu. Tekyewuunyisa nti Bayibuli eraga nti okulaga abalala okwagala kikulu nnyo.​—1 Abakkolinso 13:1-3; 1 Yokaana 4:8.

Ssaawo ekiseera okukola ku bwetaavu bwo obw’eby’omwoyo. Omusajja ayitibwa Geoff yali bulungi nnyo ne mukyala we, n’abaana baabwe ababiri, era ng’alina emikwano emirungi. Yali musawo era ng’asasulwa bulungi. Wadde kiri kityo, ku mulimu yalabanga abantu abaali babonaabona era abafa. Yeebuuzanga nti: “Ddala obulamu bwe buti bwe bulina okuba?” Kyokka lumu yasoma akatabo akeesigamiziddwa ku Bayibuli akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa, era n’afuna eby’okuddamu ebimatiza.

Geoff bye yasoma mu katabo ako yabibuulirako mukyala we n’abaana baabwe, era nabo ne babyagala. Awo Geoff n’ab’omu maka ge we baatandikira okukola ku bwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo. Ekyo kyabaleetera essanyu lingi, era kyabayamba okukozesa obulungi ebiseera byabwe. Okuyiga Bayibuli era kyabayamba okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo mu nsi eteribaamu kubonaabona kwonna.​—Okubikkulirwa 21:3, 4.

Ekyokulabirako kya Geoff kitujjukiza ebigambo bya Yesu bino: “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.” (Matayo 5:3) Oli mwetegefu okuwaayo ebiseera okukola ku bwetaavu bwo obw’eby’omwoyo? Eyo ye ngeri esingayo obulungi ey’okukozesaamu ebiseera byo, era ejja okukuganyula obulamu bwo bwonna.

^ lup. 5 Laba ekitundu, “Ebintu 20 by’Oyinza Okukola Okufuna Ebiseera,” mu Awake! eya Apuli 2010