Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Nnayiga Amazima ne Nganywererako

Nnayiga Amazima ne Nganywererako

Omuntu bw’aba agenda kugwa, afuna ekintu kye yeekwatako. Kyokka, ekyo nze sisobola kukikola kubanga sirina mikono. Bwe nnali wa myaka musanvu, bantemako emikono basobole okuwonya obulamu bwange.

Nnazaalibwa mu 1960, era maama we yanzaalira yalina emyaka 17. Bazadde bange baayawukana nga sinnazaalibwa, era nze ne maama twabeeranga ne bajjajjange mu kabuga akayitibwa Burg, mu East Germany. Okufaananako abantu abasinga obungi mu kitundu ekyo, naffe twali tetukkiririza mu Katonda.

Jjajja omusajja yali anjagala nnyo, era yantumanga okumuyambako okukola emirimu egitali gimu, gamba ng’okulinnya emiti okugitemako amatabi. Nnanyumirwanga nnyo okukola emirimu egyo, era emyaka gyange egy’obuto gyali gya ssanyu.

NFUNA EKIZIBU EKYAKYUSA OBULAMU BWANGE

Bwe nnali nnaakatandika okusoma ekibiina eky’okubiri nga ndi wa myaka musanvu, nnafuna ekizibu eky’amaanyi. Lumu bwe nnali nzirayo eka, nnalinya omulongooti gw’amasannyalaze. Bwe nnali nnaakambukako ffuuti nga 25, amasannyalaze gankuba era awo we nnakoma okutegeera. Bantwala mu ddwaliro, era bwe nnadda engulu, nnawulira ng’atalina mikono. Emikono gyange gyali giyidde nnyo era baalina okugitemako okuwonya obulamu bwange. Ekyo kyayisa bubi nnyo maama ne bajjajja! Naye olw’okuba nnali nkyali muto, saategeera buzibu bwe nnali ŋŋenda kufuna mu bulamu olw’obutaba na mikono.

Bwe nnawona ne bansiibula, nnaddayo ku ssomero. Abaana banjiikirizanga nnyo olw’okuba nnali sisobola kwerwanako, era nnawuliranga bubi nnyo. Nga wayiseewo ekiseera, nnatwalibwa mu ssomero ly’ekisulo ery’abaana abaliko obulemu. Olw’okuba essomero eryo lyali wala nnyo, maama ne bajjajja baali tebasobola kunkyalira, era nnabalabanga mu luwummula mwokka. Emyaka ekkumi egyaddirira saabeeranga nabo.

OKUKULA NGA SIRINA MIKONO

Nnayiga okukozesa ebigere byange okukola ebintu ebitali bimu. Kuba akafaananyi ng’oliisa ekijiiko oba wuma, naye ng’okozesa bigere. Ekyo nze nnayiga okukikola. Ate era nnayiga okusenya amannyo, okusanirira enviiri, n’okukola ebintu ebirala nga nkozesa bigere. Ebigere byange bye byafuuka emikono.

Bwe nnali mu myaka egy’obuvubuka nnayagalanga nnyo okusoma ebitabo bya ssaayansi. Oluusi nnakubanga akafaananyi nga nfunye emikono gye nsobola okukozesa kyonna kye njagala. Nga ndi wa myaka 14, nnatandika okunywa sigala. Nnalowooza nti ekyo kyandindeetedde okuwulira nti nkuze era nti nninga abantu abalala.

Nnafubanga okukola ebintu ebitali bimu. Nneegatta ku kibiina kya gavumenti ekiyitibwa Free German Youth (FDJ), ekikola ku nsonga z’abavubuka, era nze nnali omuwandiisi waakyo mu kitundu kyaffe. Ate era nneegatta ku kibiina ky’abayimbi, nnawandiikanga ebitontome, era nneenyigiranga mu mizannyo egitali gimu egy’abantu abaliko obulemu. Nnakolerako ne mu kampuni emu eyali mu kibuga mwe nnali mbeera. Bwe nneeyongera okukula, nnayambalanga nnyo emikono egya pulasitiika gye baali bankoledde, kubanga nnali njagala ndabike ng’abantu abalala.

NJIGA AMAZIMA

Lumu bwe nnali nninze eggali y’omukka nga ŋŋenda okukola, waliwo omusajja eyantuukirira n’ambuuza obanga nkimanyi nti ekiseera kijja kutuuka Katonda azzeewo emikono gyange. Ekibuuzo ekyo kyanneewuunyisa nnyo. Kyo kituufu nnali njagala okuba n’emikono ng’abantu abalala, naye ekyo nnali ndaba nga tekisoboka. Nnali sikkiriza nti Katonda gy’ali era seeyongera kwogera na musajja oyo.

Nga wayiseewo ekiseera, omu ku abo be nnali nkola nabo yansaba mmuwerekereko ng’agenda okukyalira bazadde be. Nga tuli eyo, bazadde be baatandika okwogera ku Yakuwa Katonda. Ku olwo lwe nnasooka okuwulira nti Katonda alina erinnya. (Zabbuli 83:18) Kyokka saakikkiriza, era mu mutima gwange nnagamba nti: ‘Katonda taliiyo. Wadde abantu bano bagamba nti alina erinnya, nja kubalaga nti bye boogera si bituufu.’ Olw’okuba nnali mukakafu nti endowooza yange ntuufu, nnakkiriza okukubaganya nabo ebirowoozo ku Bayibuli. Kyokka, saasobola kubawa bukakafu bulaga nti Katonda taliiyo.

Bwe tweyongera okwekenneenya obunnabbi obuli mu Bayibuli, endowooza yange yagenda ekyuka mpolampola. Nnakiraba nti obunnabbi bungi butuukiridde, wadde nga bwawandiikibwa emyaka mingi nnyo emabega. Twageraageranya embeera eziriwo mu nsi leero n’obunnabbi obuli mu Matayo essuula 24, Lukka 21, ne 2 Timoseewo 3. Ng’obubonero obw’enjawulo bwe buyamba omusawo okumanya obulwadde obuluma omuntu, ebintu eby’enjawulo ebyogerwako mu ssuula ezo nange byannyamba okukitegeera nti tuli mu “nnaku ez’enkomerero.” * Ebintu ebyo byanneewunyisa nnyo. Kyali kyeyoleka kaati nti obunnabbi obwo butuukirira.

Nnakiraba nti bye nnali njiga ge mazima. Nnatandika okusaba Yakuwa Katonda era ne ndekera awo okunywa sigala, wadde nga nnali mmaze emyaka egisukka mu kkumi nga mmunywa. Nneeyongera okuyiga Bayibuli okumala omwaka nga gumu. Nnabatizibwa nga 27 Apuli 1986 mu nkukutu mu bbaafu ennene, kubanga Abajulirwa ba Yakuwa baali baawerebwa mu East Germany.

NNYAMBA ABANTU ABALALA

Olw’okuba Abajulirwa ba Yakuwa baali baawerebwa, twakuŋŋaaniranga mu maka g’ab’oluganda mu bubinja butonotono, era nnali mmanyi ab’oluganda batono ddala. Naye ab’obuyinza banzikiriza okugenda mu West Germany, era eyo Abajulirwa ba Yakuwa baalina eddembe ly’okubuulira n’okukuŋŋaana awamu. Nga ndi eyo, nnagenda mu lukuŋŋaana olunene omulundi ogwasookera ddala, era nnalaba ab’oluganda nkumi na nkumi. Ekyo kyanzizaamu nnyo amaanyi.

Ekisenge ekyali kyawulamu ekibuga Berlin (Barlin Wall) bwe kyamenyebwa, Abajulirwa ba Yakuwa bakkirizibwa okuddamu okukola omulimu gwabwe mu Bugirimaani mwonna nga tewali abakuba ku mukono. Nnali njagala nnyo okwongera ku biseera bye nnali mmala mu kubuulira, naye nnali nneetya olw’okuba saalina mikono, era n’olw’okuba emyaka egisinga nnagimala mu ssomero ly’abaana abaliko obulemu. Naye mu 1992, nnagezaako okubuulira okumala essaawa 60 mu mwezi gumu. Ekyo nnasobola okukituukiriza, era olw’okuba nnafuna essanyu lingi, nnasalawo okubuulira essaawa ezo buli mwezi okumala emyaka esatu.

Bulijjo ndowooza ku kyawandiikibwa ekigamba nti: “Ani aba omunafu ne siba munafu?” (2 Abakkolinso 11:29) Wadde sirina mikono, obwongo bwange bukola bulungi era nsobola bulungi okwogera. N’olwekyo, nkola kyonna kye nsobola okuyamba abalala. Ntegeera bulungi ebizibu abantu abaliko obulemu bye bayitamu. Mmanyi ennaku omuntu gy’awulira nga muli ayagala okukola ekintu naye nga tasobola, era nfuba okugumya abantu abalinga abo. Okuyamba abalala kindeetera essanyu lingi.

Okubuulira abalala amawulire malungi kindeetera essanyu lingi

YAKUWA ANNYAMBA BULI LUNAKU

Oluusi embeera gye ndimu endeetera okwennyamira. Nange njagala okuba ng’abantu abalala abataliiko bulemu bwonna. Kyo kituufu waliwo ebintu ebiwerako bye nsobola okwekolera, naye si kyangu, era kintwalira ebiseera bingi n’amaanyi mangi okubikola. Ekyawandiikibwa ekiŋŋumya ennyo ky’ekyo ekigamba nti: “Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.” (Abafiripi 4:13) Buli lunaku Yakuwa ampa amaanyi ge nneetaaga okukola emirimu gyange. Nkimanyi nti Yakuwa talinjabulira, era nange sirimuvaako.

Wadde nga mu buto bwange ebiseera ebisinga saabeeranga na ba ŋŋanda zange, Yakuwa yampa omukyala omulungi, era n’abaana. Ate era nnina ne baganda bange ne bannyinaze, Abajulirwa ba Yakuwa, okwetooloola ensi yonna.

Nga ndi ne mukyala wange Elke

Ekintu ekirala ekiŋŋumya ennyo kwe kukimanya nti mu nsi empya ebintu byonna, nga mw’otwalidde n’omubiri gwange, Katonda ‘ajja kubizza buggya.’ (Okubikkulirwa 21:5) Ebyo Yesu bye yakola ng’ali wano ku nsi binkakasa nti ekyo kijja kutuukirira. Yawonya omusajja eyalina omukono ogwakalambala, era yawonya n’omusajja gwe baali basazeeko okutu. (Matayo 12:13; Lukka 22:50, 51) Ebisuubizo bya Yakuwa n’ebyamagero Yesu bye yakola, binkakasa nti nja kuddamu mbeere mulamu bulungi.

Kyokka ekisinga okunsanyusa kwe kuba nti kati mmanyi Yakuwa Katonda. Afuuse kitange era mukwano gwange; ambudaabuda era ampa amaanyi. Mpulira nga Kabaka Dawudi eyagamba nti: “Yakuwa ge maanyi gange . . . Annyambye, era omutima gwange gujaguza.” (Zabbuli 28:7) Amazima ago ge nnayiga njagala okuganywererako obulamu bwange bwonna.

^ lup. 17 Okumanya ebisingawo ebiraga nti tuli mu nnaku ez’enkomerero, laba essuula 9 erina omutwe, “Enkomerero Eri Kumpi?” mu katabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Osobola n’okukafuna ku mukutu www.mr1310.com/lg.