OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Ddesemba 2016

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Jjanwali 30 okutuuka nga Febwali 26, 2017.

EBYAFAAYO EBIKWATA KU BULAMU BW'AB'OLUGANDA

Nfuuka “Byonna eri Abantu aba Buli Ngeri”

Emirimu egitali gimu Denton Hopkinson gy’akoze mu kibiina kya Yakuwa okumala emyaka mingi gimuyambye okulaba engeri Yakuwa gy’aleetamu abantu aba buli ngeri mu kibiina kye.

Mwasumululwa olw’Ekisa kya Katonda eky’Ensusso

Okumanya ekyo Yakuwa kye yakola okukuggya mu buddu bw’ekibi n’okufa kisobola okukuganyula.

“Okulowooza eby’Omwoyo Kivaamu Obulamu n’Emirembe”

Mu Abaruumi essuula 8 mulimu amagezi agasobola okukuyamba okufuna emikisa Yakuwa gy’agenda okuwa abantu mu biseera eby’omu maaso.

Okyajjukira?

Ofubye okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ze tufunye mu myezi egyakayita? Laba ebibuuzo bimeka by’osobola okuddamu.

Yakuwa Mukwase Byonna Ebikweraliikiriza

Ebiseera ebimu abaweereza ba Katonda bafuna ebibeeraliikiriza. Waliwo ebintu bina ebisobola okukuyamba okufuna emirembe egiva ewa Katonda.

Yakuwa Awa Empeera Abo Abafuba Okumunoonya

Essuubi Yakuwa ly’atuwa lituganyula litya? Yakuwa yawa atya abaweereza be ab’edda empeera era awa atya abaweereza be leero empeera?

Okuba Omukkakkamu​—Kya Magezi

Si kyangu kusigala ng’oli mukkakkamu nga waliwo akuyisizza mu ngeri eteri nnungi, naye Bayibuli ekubiriza Abakristaayo okuba abakkakkamu. Kiki ekiyinza okukuyamba okuba omukkakkamu?

Olukalala lw’Emitwe mu Omunaala gw’Omukuumi 2016

Emitwe gy’ebitundu ebyafulumira mu magazine y’Omunaala gw’Omukuumi ogw’Okusoma mu kibiina n’ogwa bonna.