ZUUKUKA Na. 6 2016 | Engeri gy’Oyinza Okwewalamu—Endwadde
Endwadde nnyingi nnyo leero era zisobola okukukwata. Biki by’oyinza okukola okuzeewala?
OMUTWE OGULI KUNGULU
Engeri gy’Oyinza Okwewalamu—Endwadde
Buli lunaku omubiri gwo gulwanagana n’abalabe oluusi nga tokitegedde.
OMUTWE OGULI KUNGULU
Weekuume Endwadde
Laba ebintu bitaano ebitera okusaasaaniramu endwadde, n’engeri gy’oyinza okuzeekuumamu.
KYAJJAWO KYOKKA?
Obuguwa bwa Mussel
Mussel ekozesa obuguwa bwayo okwekwata ku bintu ebitali bimu. Okumanya enkula y’obuguwa obwo esobola okutuyamba mu kukwasa ebintu ku bizimbe ne mu kuyunga amagumba.
EBIYAMBA AMAKA
Oyinza Otya Okulaga nti Ossaamu Munno Ekitiibwa?
Kikulu abafumbo buli omu okussaamu munne ekitiibwa. Oyinza otya okulaga nti ossaamu munno ekitiibwa?
Ekyennyanja Ekyewuunyisa Ekiyitibwa Clown
Ekyennyanja ekyo kirina langi ez’enjawulo era kyetaaga anemone ate ne anemone ekyetaaga. Ekyennyanja ekyo kikolera kitya awamu ne anemone?
BAYIBULI KY'EGAMBA
Okukwata Obudde
Okukwata obudde oba okukeerewa kirina kye kikola ku linnya lyo. Kiki Bayibuli ky’eyogera ku kukwata obudde?
Olukalala lw’Emitwe mu Zuukuka! mu 2016
Olukalala lw’emitwe mu Zuukuka! mu mwaka gwa 2016.
Ebirala Ebyajulizibwako mu Magazini Eyakubibwa mu Kyapa
Tegekanga Bulungi Ebintu Byo
Ebintu byonna Yakuwa bye yatonda yabiteeka mu bifo byabyo ebituufu. Yiga engeri y’okutegekamu ebintu byo!
Bayibuli Eyogera Ki ku Ssekukkulu?
Ebyafaayo by’ebintu mukaaga ebikwata ku Ssekukkulu biyinza okukwewuunyisa.