Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ddala Katonda y’Atuleetera Okubonaabona?

Ddala Katonda y’Atuleetera Okubonaabona?

Bayibuli ky’egamba

 Bayibuli egamba nti si y’atuleetera okubonaabona! Tekyali kigendererwa kya Katonda abantu okubonaabona. Kyokka abantu ababiri abaasooka baajeemera Katonda, nga baagala okweteerawo emitindo egyabwe ku bwabwe egikwata ku kituufu n’ekikyamu. Baava ku Katonda, ekyo ne kibaviirako okubonaabona.

 Naffe leero tubonaabona olw’okuba abantu abo ababiri abaasooka baasalawo mu ngeri eteri ya magezi. Naye Katonda si ye yaleetera abantu okubonaabona.

 Bayibuli egamba nti: “Omuntu yenna bw’agezesebwanga tagambanga nti: ‘Katonda y’angezesa.’ Kubanga Katonda tayinza kugezesebwa na bintu bibi era ye kennyini tagezesa muntu yenna.” (Yakobo 1:13) Abantu bonna babonaabona, nga mw’otwalidde n’abo abasiimibwa mu maaso ga Katonda.