Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Oyinza Kusaba Otya Okusobola Okuwulirwa Katonda?

Oyinza Kusaba Otya Okusobola Okuwulirwa Katonda?

Yakuwa, ye Katonda “awulira okusaba.” (Zabbuli 65:2) Ka tube mu kifo ki tusobola okwogera naye ekiseera kyonna, mu ddoboozi eriwulikika oba mu kasirise. Yakuwa ayagala tumuyite “Kitaffe,” era ye Kitaffe asingayo obulungi. (Matayo 6:9) Olw’okuba Yakuwa Katonda atwagala nnyo, atubuulira engeri gye tusaanidde okumusabamu asobole okuwuliriza essaala zaffe.

SABA YAKUWA KATONDA NG’OYITIRA MU LINNYA LYA YESU

“Bwe musaba Kitange ekintu kyonna, ajja kukibawa mu linnya lyange.”​Yokaana 16:23.

Ebigambo bya Yesu ebyo biraga bulungi nti Yakuwa ayagala tumusabe nga tuyitira mu Yesu Kristo, so si okuyitira mu bifaananyi, abatukuvu, bamalayika, oba abantu abaafa. Bwe tusaba Katonda nga tuyitira mu linnya lya Yesu, tuba tukiraga nti tussa ekitiibwa mu kifo ekikulu Yesu ky’alina. Yesu yagamba nti: “Tewali ajja eri Kitange okuggyako ng’ayitidde mu nze.”​—Yokaana 14:6.

MUBUULIRE EBIKULI KU MUTIMA

“Mumubuulire ebibali ku mutima.”​Zabbuli 62:8.

Bwe tuba tusaba Yakuwa, tusaanidde okwogera naye nga tulinga aboogera ne kitaffe atwagala ennyo. Mu kifo ky’okusoma essaala eyawandiikibwa mu kitabo oba okuddiŋŋana ebigambo bye twakwata mu mutwe, tusaanidde okwogera ne Katonda mu ngeri emuweesa ekitiibwa era nga bye twogera biviira ddala ku mutima.

SABA EBIKWATAGANA N’EBYO KATONDA BY’AYAGALA

“Bwe tusaba ekintu kyonna ekituukagana n’ebyo by’ayagala, atuwulira.”​—1 Yokaana 5:14.

Mu Bayibuli, Yakuwa Katonda atubuulira by’ajja okutukolera era n’ebyo by’ayagala tukole. Essaala zaffe okusobola okuwulirwa Katonda, tulina okusaba “ebituukagana n’ebyo by’ayagala.” Okusobola okukola ekyo, tulina okusoma Bayibuli tusobole okumanya ebyo Katonda by’ayagala. Bwe tunaakola bwe tutyo, Katonda ajja kuwulira essaala zaffe.

BIKI BYE TUYINZA OKWOGERAKO NGA TUSABA?

Mubuulire Bye Weetaaga. Tusobola okusaba Katonda atuyambe okufuna emmere, eby’okwambala, n’aw’okusula. Ate era tusobola okumusaba atuwe amagezi tusobole okusalawo obulungi era n’okugumira ebizibu bye tulina. Tusobola okumusaba atuwe okukkiriza, atusonyiwe ebibi byaffe, era atuwe obuyambi bwe twetaaga.​—Lukka 11:3, 4, 13; Yakobo 1:5, 17.

Sabira Abalala. Abazadde kibasanyusa okulaba ng’abaana baabwe baagalana era nga buli omu afaayo ku munne. Ne Yakuwa kimusanyusa okulaba ng’abaana be ab’oku nsi baagalana era nga buli omu afaayo ku munne. Kiba kirungi okusabira omwami waffe oba mukyala waffe, abaana baffe, ab’eŋŋanda zaffe, ne mikwano gyaffe. Omutume Yakobo yagamba nti: “Musabiraganenga.”​—Yakobo 5:16.

Mwebaze. Bayibuli eyogera bw’eti ku Mutonzi waffe: “Akola ebintu ebirungi, gamba ng’abawa enkuba okuva mu ggulu, ng’abaza emmere mu biseera byayo, ng’abawa emmere mu bungi, era ng’ajjuza emitima gyammwe essanyu.” (Ebikolwa 14:17) Bwe tulowooza ku bintu byonna ebirungi Katonda by’atukolera, kituleetera okumwebaza. Ate era tusaanidde okukiraga nti tusiima ebyo Katonda by’atukolera, nga tukola by’ayagala.​—Abakkolosaayi 3:15.

BEERA MUGUMIIKIRIZA ERA TOLEKERA AWO KUSABA

Oluusi tuyinza okuggwaamu amaanyi singa tusaba mu bwesimbu, kyokka essaala zaffe ne zitaddibwamu mangu. Ekyo kitegeeza nti Katonda tatufaako? Nedda! Ka tulabe ebyokulabirako ebiraga nti kiyinza okutwetaagisa okweyongera okusaba, essaala zaffe bwe zirabika ng’ezitaddibwamu.

Steve, eyayogeddwako mu kitundu ekyasoose agamba nti, “Singa seeyongera kusaba, nnandibadde sikyalina ssuubi mu bulamu.” Steve bwe yatandika okuyiga Bayibuli, yakitegeera nti kikulu nnyo okusaba era n’obutakoowa kusaba. Agamba nti: “Bwe mba nsaba Katonda, mmwebaza olw’obuyambi bw’ampa okuyitira mu mikwano gyange era kati ndi musanyufu nnyo.”

Ate Jenny, eyali alowooza nti si wa mugaso era nti tasaana kuwulirwa Katonda? Agamba nti: “Nneegayirira Katonda annyambe okumanya ensonga lwaki nnali mpulira nga siri wa mugaso.” Ekyo kyamuyamba kitya? Agamba nti: “Okusaba Katonda kinnyambye okwetwala nga Katonda bw’antwala era n’okukakasa omutima gwange nti Katonda anjagala. Ate era kinnyambye obutaggwaamu maanyi.” Biki ebivuddemu? Agamba nti: “Okusaba kunnyambye okutwala Yakuwa nga mukwano gwange era kitange anjagala, anfaako, era aliwo okunnyamba buli lwe nneetaaga obuyambi, kasita nfuba okukola by’ayagala.”

Isabel bw’alaba nga mutabani we Gerard musanyufu wadde ng’aliko obulemu, akiraba nti Katonda yaddamu essaala ze

Ate lowooza ku Isabel. Bwe yali olubuto, abasawo baamugamba nti omwana we yandizaaliddwa ng’aliko obulemu obw’amaanyi. Ekyo kyamukuba wala. Abamu baamuwa n’amagezi nti aggyemu olubuto. Agamba nti: “Nnawulira nga njula kufa, olw’ennaku ey’amaanyi gye nnalina.” Kiki kye yakola? Agamba nti: “Nnasaba nnyo Katonda annyambe.” Oluvannyuma yazaala omwana omulenzi ng’aliko obulemu, n’amutuuma Gerard. Isabel awulira nti Katonda yaddamu essaala ze? Yee, mu ngeri ki? Agamba nti: “Mutabani wange kati alina emyaka 14, era bwe mmulaba nga musanyufu wadde ng’aliko obulemu, nkiraba nti Katonda yaddamu essaala zange. Era mmutwala ng’ekirabo ekisingayo obulungi Yakuwa Katonda kye yampa.”

Ebigambo ebyo bituleetera okulowooza ku bigambo by’omuwandiisi wa zabbuli bino: “Ojja kuwulira okwegayirira kw’abawombeefu, Ai Yakuwa. Ojja kugumya emitima gyabwe era obawulirize.” (Zabbuli 10:17) Ekyo tekyandikuleetedde kweyongera kusaba Katonda?

Bayibuli erimu essaala nnyingi Yesu ze yasaba. Essaala esinga okumanyibwa, yeeyo gye yayigiriza abayigirizwa be. Biki bye tuyigira ku ssaala eyo?