Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Katonda “awulira okusaba,” ayagala nnyo okuwulira okusaba kwaffe.​—ZABBULI 65:2

Weeyongere Okusaba Katonda

Weeyongere Okusaba Katonda

Katonda yawa abantu enkizo ey’okwogeranga naye ne bamubuulira ebibali ku mutima okuyitira mu kusaba. Nnabbi Dawudi yasaba Katonda nti: “Ai ggwe awulira okusaba, abantu aba buli kika banajjanga gy’oli.” (Zabbuli 65:2) Naye osaanidde kusaba otya okusobola okuwulirwa Katonda n’okufuna emikisa gye?

BW’OBA OSABA BEERA MUWOMBEEFU, ERA YOGERA EBIKULU KU MUTIMA

Okuyitira mu kusaba, osobola ‘okubuulira Katonda ebikuli ku mutima.’ (Zabbuli 62:8) Omuyinza w’Ebintu Byonna ayagala nnyo okuwuliriza essaala eziviira ddala ku mutima.

KOZESA ERINNYA LYA KATONDA NG’OMUSABA

Wadde nga Katonda alina ebitiibwa bingi, alina erinnya limu lyokka. Agamba nti: “Nze Yakuwa. Eryo lye linnya lyange.” (Isaaya 42:8) Erinnya Yakuwa lirabika emirundi nga 7,000 mu Byawandiikibwa Ebitukuvu. Bannabbi bangi baakozesanga erinnya lya Katonda nga bamusaba. Ibulayimu yagamba nti: “Nkwegayiridde Yakuwa, . . . ka nneeyongere okwogera [naawe].” (Olubereberye 18:30) Naffe tusaanidde okukozesa erinnya lya Katonda, Yakuwa, nga tumusaba.

SABA MU LULIMI LWO

Katonda ategeera bye tulowooza n’engeri gye twewuliramu ka tube nga twogera lulimi ki. Ekigambo kye kitukakasa nti: “Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola ekituufu amukkiriza.”​—Ebikolwa 10:34, 35.

Kyokka okusobola okufuna emikisa gya Katonda, tetulina kukoma bukomi ku kusaba. Mu kitundu ekiddako, tugenda kulaba ebirala bye tulina okukola.