Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Omutonzi Waffe Atufaako

Omutonzi Waffe Atufaako

1. OMUTONZI WAFFE ATUWA OMUSANA

Olowooza obulamu bwandibadde butya nga tewali musana? Omusana gusobozesa ebimera okussaako ebikoola, ebimuli, ebibala, n’ensigo. Ate era gusobozesa emiti okuggya amazzi mu ttaka okuyitira mu mirandira ne gatuuka mu bikoola oluvannyuma ne gagenda mu bbanga ne gakola ebire ebivaamu enkuba.

2. OMUTONZI WAFFE ATUWA ENKUBA

Katonda atuwa enkuba esobozesa ettaka okumeza emmere gye tulya. Atuwa enkuba okuva mu ggulu, abaza emmere mu biseera byayo, atuwa emmere mu bungi, era ajjuza emitima gyaffe essanyu.

3. OMUTONZI WAFFE ATUWA EMMERE N’EBY’OKWAMBALA

Bataata bangi beeraliikirira obanga banaasobola okufunira ab’omu maka gaabwe emmere ebamala n’eby’okwambala. Kyokka, Ebyawandiikibwa Ebitukuvu bigamba nti: “Mwetegereze ebinyonyi eby’omu bbanga. Tebisiga, tebikungula, era tebitereka mu materekero; naye Kitammwe ali mu ggulu abiriisa. Mmwe temuli ba muwendo nnyo okubisinga?”​—Matayo 6:25, 26.

“Mubeeko kye muyigira ku ngeri amalanga ag’oku ttale gye gakulamu; . . . naye mbagamba nti ne [Kabaka] Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyayambala ng’erimu ku go. Bwe kiba nti bw’atyo Katonda bw’ayambaza omuddo ogw’oku ttale . . . , taasinge kwambaza mmwe?”​—Matayo 6:28-30.

Okuva bwe kiri nti Katonda asobola okutuwa emmere n’eby’okwambala, tuli bakakafu nti asobola n’okutuyamba okufuna ebyetaago ebirala eby’obulamu. Bwe tufuba okukola Katonda by’ayagala, asobola okutuyamba emmere gye tulimye n’ebala oba okutuyamba okufuna omulimu ne tufuna ssente ez’okugula bye twetaaga.​—Matayo 6:32, 33.

Mu butuufu, bwe tulowooza ku musana, enkuba, ebinyonyi, n’ebimera, kituleetera okweyongera okwagala Katonda. Mu kitundu ekiddako, tugenda kulaba engeri Omutonzi gy’atuusa obubaka bwe ku abantu.