Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

KOPPA OKUKKIRIZA KWABWE

Yagumiikiriza mu Biseera Ebizibu

Yagumiikiriza mu Biseera Ebizibu

ERIYA yamala wiiki eziwerako ng’atambula okuva ku Lusozi Kolebu okuddayo mu Isiraeri. Bwe yatuuka mu Isiraeri, yalabawo enkyukakyuka. Ebintu ebyali byonooneddwa ekyeya ekyamala ebbanga eddene byali bigenda biddawo. Enkuba yali etandise okutonnya, era n’abalimi baali mu nnimiro zaabwe. Nnabbi oyo bwe yalaba ng’ensi egenda etereera ateekwa okuba nga yaddamu nnyo amaanyi, naye yali asinga kufaayo ku bantu. Baali bakyali bubi nnyo mu by’omwoyo. Baali bakyasinza Bbaali katonda ow’obulimba era nga kino kiraga nti Eriya yalina omulimu munene nnyo ogw’okukola. *

Eriya bwe yatuuka okumpi n’akabuga Aberumekola, yalaba ennimiro ennene ennyo eyali erimibwa abasajja 12, nga buli omu alimisa ente bbiri bbiri. Omu ku basajja abo yali ayitibwa Erisa, era nga Eriya gwe yali anoonya. Yakuwa gwe yali alonze okudda mu bigere bya Eriya. Olw’okuba Eriya yali amaze ekiseera kiwanvu ng’aweereza Katonda ng’ali yekka, ateekwa okuba nga yali yeesunga okulaba omusajja oyo eyandimuyambyengako.1 Bassekabaka 18:22; 19:14-19.

Eriya yandiba nga yawulira bubi olw’okuba yali agenda kugabana n’omuntu omulala enkizo ze yalina? Era yandiba nga yawulira bubi olw’okuba ekiseera kyandituuse omulala n’amuddira mu bigere? Oboolyawo, kubanga naye “yali muntu nga ffe.” (Yakobo 5:17) Ka kibe nga kyali bwe kityo oba nga tekyali bwe kityo, Bayibuli egamba nti: “Eriya n’asomoka okugenda gy’ali n’amusuulako omunagiro gwe.” (1 Bassekabaka 19:19) Omunagiro Eriya gwe yayambalanga kyali kyambalo oboolyawo ekyakolebwa mu ddiba ly’endiga oba ery’embuzi, era nga kye kyamwawulangawo nga nnabbi wa Yakuwa. N’olwekyo okukyambaza Erisa kyali kiraga nti Yakuwa yali amulonze okuddira Eriya mu bigere. Eriya okukola bw’atyo kyalaga nti yagonderanga Katonda era yamwesiganga.

Yakuwa yalonda Erisa okuddira Eriya mu bigere

Erisa eyali akyali omuvubuka, yagitwala nga nkizo ya maanyi okuyamba nnabbi wa Katonda. Teyadda mu bigere bya Eriya mu kiseera ekyo kyennyini. Yali muwombeefu kubanga yamala emyaka nga mukaaga ng’ayamba nnabbi Eriya, era Bayibuli egamba nti ‘yafukiriranga amazzi mu ngalo za Eriya.’ (2 Bassekabaka 3:11) Okuba n’omuweereza omulungi bw’atyo nga kiteekwa okuba nga kyasanyusa nnyo Eriya! Abasajja abo ababiri bateekwa okuba nga baafuuka ba mukwano nnyo. Bateekwa okuba nga bazziŋŋanangamu amaanyi ekyabayamba okugumiikiriza mu kiseera ekizibu ennyo kye baalimu. Mu kiseera ekyo, kabaka Akabu yali yeeyongera bweyongezi kuba mubi.

Naawe wali oyisiddwako mu ngeri etali ya bwenkanya? Abasinga obungi ku ffe tuyisibwa bwe tutyo mu nsi eno embi. Okufuna ow’omukwano ayagala ennyo Katonda kiyinza okukuyamba okugumiikiriza. Ate era bwe tuba tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya, waliwo bye tuyinza okuyigira ku Eriya.

‘GOLOKOKA OSERENGETE OSISINKANE AKABU’

Eriya ne Erisa baafuba nnyo okuyamba abantu okuweereza Katonda ow’amazima. Bateekwa okuba nga baatendekanga bannabbi abalala abaaliwo mu kiseera ekyo. Nga wayiseewo ekiseera, Yakuwa yawa Eriya obuvunaanyizibwa obulala. Yamugamba nti: “Golokoka oserengete osisinkane ne Akabu kabaka wa Isiraeri.” (1 Bassekabaka 21:18) Kiki Akabu kye yali akoze?

Kabaka oyo yali mujeemu, era yali mubi okusinga bakabaka ba Isiraeri bonna abaamusookawo. Yali yawasa Yezeberi, era yaleetera Abaisiraeri bangi okutandika okusinza Bbaali, era nga ne kabaka kennyini yali yeenyigira mu kusinza okwo okw’obulimba. (1 Bassekabaka 16:31-33) Okusinza Bbaali kwali kuzingiramu okwegatta mu lujjudde, okusaddaaka abaana, n’okukola emikolo egyali girowoozebwa okubaza ebirime. Okugatta ku ekyo, Akabu yali yaakajeemera Yakuwa bwe yagaana okutta Benikadadi, kabaka wa Busuuli eyali omubi ennyo. Kirabika Akabu yagaana okutta kabaka oyo olw’okuba yali ayagala okwefunira eby’obugagga. (1 Bassekabaka, essuula 20) Akabu ne mukyala we Yezeberi, beeyongera okuba abakambwe n’okwagala ennyo ebintu.

Akabu yalina olubiri gaggadde e Samaliya! Era yalina n’olubiri olulala e Yezuleeri, mayiro nga 23 okuva e Samaliya. Okumpi n’olubiri lw’e Yezuleeri, waaliwo ennimiro ya Nabosi ey’emizabbibu. Akabu yeegomba ennimiro eyo era n’ayita Nabosi n’amugamba agimuguze oba bawaanyise amuweemu ennimiro endala. Naye Nabosi yamugamba nti: “Kikafuuwe nze okukuwa obusika bwa bajjajjange, kubanga ekyo Yakuwa yakigaana.” (1 Bassekabaka 21:3, NW) Nabosi yali mujeemu bujeemu? Abamu bwe batyo bwe balowooza, naye si bwe kyali. Nabosi yali agondera etteeka lya Yakuwa eryali ligaana Abaisiraeri okutundira ddala ettaka lye baasikira. (Eby’Abaleevi 25:23-28) Nabosi yagaana okumenya etteeka lya Katonda eryo. Yali musajja eyalina okukkiriza era eyali omuvumu, kubanga yali akimanyi bulungi nti kyali kya kabi nnyo okuwakanya Akabu.

Akabu ye yali tafaayo ku tteeka lya Katonda eryo. Yaddayo ewuwe, “ng’anyiikadde era ng’anyiize” olw’okuba yali tafunye kye yali ayagala. Bayibuli egamba nti: “N’agalamira ku kitanda kye n’akyusa amaaso ge n’atakkiriza kulya ku mmere.” (1 Bassekabaka 21:4) Yezeberi bwe yalaba ng’omwami we atandise okweyisa ng’omwana omuto, amangu ago yakola olukwe olw’okutta Nabosi ne batabani be asobole okumufunira kye yali ayagala.

Bw’osoma ku lukwe lwe yakola, owulira ennaku ey’amaanyi. Yezeberi yali amanyi etteeka lya Katonda eryali ligamba nti okusingisa omuntu omusango kyali kyetaagisa abajulizi babiri abamulumiriza. (Ekyamateeka 19:15) Bwe kityo, yawandiika amabaluwa mu linnya lya Akabu, n’agaweereza ab’obuyinza mu Yezuleeri bafune abasajja babiri abasobola okulumiriza Nabosi omusango gw’okuvvoola Katonda ne kabaka. Omuntu eyabanga azzizza omusango ogwo yattibwanga. Olukwe lwe lwayitamu. “Abasajja babiri” baawa obujulizi obw’obulimba ku Nabosi, n’akubibwa amayinja n’afa. Batabani ba Nabosi nabo battibwa! * (1 Bassekabaka 21:5-14; Eby’Abaleevi 24:16; 2 Bassekabaka 9:26) Akabu yalagajjalira obuvunaanyizibwa bwe ng’omutwe gw’amaka n’aleka mukazi we okukola buli kye yali ayagala n’atuuka n’okutta abantu abataalina musango.

Teeberezaamu engeri Eriya gye yawuliramu Yakuwa bwe yamutegeeza ekyo kabaka Akabu ne mukazi we kye baali bakoze. Kiruma nnyo okulaba ng’abantu ababi bayisa bubi abalungi. (Zabbuli 73:3-5, 12, 13) Leero waliwo ebikolwa bingi ebitali bya bwenkanya, ate ng’abamu ku bantu ababikola beeyita baweereza ba Katonda. Naye ebyo bye tusoma mu Bayibuli ebikwata ku Akabu ne Yezeberi bisobola okutuzzaamu amaanyi. Bayibuli eraga nti buli kimu ekikolebwa Katonda akiraba. (Abebbulaniya 4:13) Kiki ky’akolawo bw’alaba ng’abantu bakola ebintu ebibi?

“ONDABYE, GGWE OMULABE WANGE?”

Yakuwa yatuma Eriya eri Akabu. Yamugamba nti: “Ali mu lusuku olw’emizabbibu olwa Nabosi.” (1 Bassekabaka 21:18) Yezeberi bwe yabuulira Akabu nti Nabosi afudde, Akabu yasitukiramu ng’eyatega ogw’ekyayi okugenda okulambula ennimiro. Yali tamanyi nti Yakuwa yali alaba byonna ebyali bigenda mu maaso. Kuba akafaananyi nga Akabu atambulatambula mu nnimiro y’emizabbibu nga yenna musanyufu. Naye aba akyali awo, Eriya n’atuuka! Akabu bwe yalaba Eriya yanyiiga nnyo era n’amugamba nti: “Ondabye, ggwe omulabe wange?”1 Bassekabaka 21:20.

“Ondabye, ggwe omulabe wange?”

Mu kugamba Eriya nti “Ondabye,” Akabu yali talowoozezza n’akatono ku Yakuwa. Yakuwa ye yasooka ‘okumulaba.’ Yali akirabye nti Akabu yakkiriza okutwala ennimiro Yezeberi gye yamuwa oluvannyuma lw’okutta nnyini yo. Era yali akirabye nti okwagala ennyo ebintu kyaleetera Akabu obutooleka kisa na bwenkanya. Ate era, mu kugamba Eriya nti “ggwe omulabe wange,” Akabu yakyoleka nti yalina obukyayi bwa maanyi nnyo eri omuweereza wa Katonda eyandimuyambye obutakola nsobi.

Waliwo bingi bye tusobola okuyigira ku nsobi za Akabu. Tusaanidde okukijjukira nti Katonda alaba buli kimu kye tukola. Nga Kitaffe ow’okwagala, asobola okukiraba nti tutandise okuwaba, era aba ayagala nnyo okututereeza. Atutereeza ng’akozesa mikwano gye, nga be baweereza be nga Eriya, ababuulira Ekigambo kya Katonda. Nga kiba kibi nnyo mikwano gya Katonda okubayita abalabe baffe!Zabbuli 141:5.

Kuba akafaananyi nga Eriya addamu Akabu nti: “Nkulabye.” Yali akirabye nti Akabu mubbi, mutemu, era nti ajeemedde Yakuwa Katonda. Kyali kimwetaagisa okuba omuvumu okusobola okwogera ne Akabu! Eriya yabuulira Akabu omusango Katonda gwe yali amusalidde. Yakuwa yali alaba bulungi ebyali kigenda mu maaso. Yali akirabye nti ab’omu maka ga Akabu baali baleetedde n’abantu abalala okukola ebintu ebibi. Bwe kityo, Eriya yagamba Akabu nti Katonda yali alayidde ‘okwerera ddala’ ab’omu lunyiriri lwa Akabu. Ne Yezeberi yandittiddwa.1 Bassekabaka 21:20-26.

Eriya yali takitwala nti abantu abakola ebintu ebibi tebabonerezebwa. Naye leero abantu bangi bwe batyo bwe balowooza. Ebyo bye tulabye bitulaga nti Yakuwa takoma ku kulaba ebintu ebibi ebikolebwa, naye era nti abo ababikola ababonereza mu kiseera kye ekigereke. Ekigambo kye kitukakasa nti ekiseera kinaatera okutuuka amalirewo ddala obutali bwenkanya! (Zabbuli 37:10, 11) Naye oyinza okwebuuza nti: ‘Katonda abonereza bubonereza, oba era ayoleka obusaasizi?’

‘OLABYE AKABU BWE YEETOOWAZIZZA MU MAASO GANGE?’

Eriya ayinza okuba nga yeewuunya nnyo olw’ekyo Akabu kye yakola ng’amaze okuwulira omusango ogwali gumusaliddwa. Bayibuli egamba nti: “Akabu bwe yawulira ebigambo ebyo, n’ayuza ebyambalo bye n’ayambala ebibukutu ku mubiri gwe n’asiiba n’agalamira ng’ayambadde ebibukutu n’atambula mpola.” (1 Bassekabaka 21:27) Akabu yeenenya?

Tuyinza okugamba nti waliwo enkyukakyuka ennungi ze yakola. Akabu yeewombeeka, era nga si kyangu omuntu ow’amalala era omutemu okukola ekintu ng’ekyo. Naye, Akabu yeenenya mu bwesimbu? Lowooza ku kabaka Manase, ayinza okuba nga yali mubi nnyo n’okusinga Akabu. Yakuwa bwe yabonereza Manase, Manase yeewombeeka era n’asaba Yakuwa amusonyiwe. Naye teyakoma awo. Yaggyawo ebibumbe byonna bye yali asinza n’asinza Yakuwa yekka, era n’akubiriza n’abantu bonna mu bwakabaka bwe okukola kye kimu. (2 Ebyomumirembe 33:1-17) Akabu naye bw’atyo bwe yakola? Nedda.

Yakuwa yakiraba nti Akabu yali teyeenenyezza mu bwesimbu? Yakuwa yagamba Eriya nti: “Olabye Akabu bwe yeetoowazizza mu maaso gange? Kale nga bwe yeetoowazizza mu maaso gange, akabi sirikaleeta mu mulembe gwe, wabula ndikaleeta ku b’ennyumba ye mu mulembe gwa mutabani we.” (1 Bassekabaka 21:29, NW) Ekyo kitegeeza nti Yakuwa yasonyiwa Akabu? Nedda. Yandimusonyiye singa yeenenya mu bwesimbu. (Ezeekyeri 33: 14-16) Naye olw’okuba yeewombeeka, Yakuwa yamulaga bulazi kisa. Yakuwa yali tayagala Akabu alabe ng’ab’omu maka ge bonna battibwa.

Yakuwa teyamuggyako musango gwe yali amusalidde. Nga wayiseewo ekiseera, Yakuwa yeebuuza ku bamalayika ku ngeri y’okubuzaabuzaamu Akabu agende mu lutalo mwe yandifiiridde. Oluvannyuma, Akabu yagenda mu lutalo ne bamufumita, n’avaamu omusaayi okutuusa lwe yafiira mu ggaali lye. Bwe baamala okwoza eggaali mwe yafiira, embwa zaakomba omusaayi gwe nga n’abantu balaba. Bwe kityo, ebigambo Yakuwa bye yagamba Akabu ng’ayitira mu nnabbi Eriya byatuukirira. Yamugamba nti: “Mu kifo embwa mwe zaakombera omusaayi gwa Nabosi, embwa mwe zirikombera omusaayi gwo.”1 Bassekabaka 21:19; 22:19-22, 34-38.

Eriya, Erisa, n’abantu ba Katonda abalala bwe baategeera engeri Akabu gye yafaamu, baamanya nti Katonda yali teyeerabidde obuvumu n’okukkiriza Nabosi bye yayoleka. Katonda mwenkanya era abonereza ababi mu kiseera kye ekigereke; kyokka era asonyiwa omuntu eyeenenyezza. (Okubala 14:18) Ekyo nga kyali kya kuyiga kya maanyi nnyo eri Eriya eyagumiikiriza okumala emyaka mingi mu bufuzi bwa kabaka oyo eyali omubi! Naawe wali oyisiddwako mu ngeri etali ya bwenkanya? Oyagala Katonda abeeko ky’akolawo? Bwe kiba bwe kityo, beera mugumiikiriza nga Eriya. Ng’ali wamu ne Erisa mukwano gwe omwesigwa, Eriya yeeyongera okubuulira Ekigambo kya Katonda n’okugumiikiriza mu biseera ebizibu!

^ lup. 3 Yakuwa yaleeta ekyeya ekyamala emyaka esatu n’ekitundu asobole okulaga nti Bbaali, katonda abantu gwe baali basinza nga bagamba nti y’atonnyesa enkuba era nti y’agimusa ettaka, wa bulimba. (1 Bassekabaka, essuula 18) Laba ebitundu ebirina omutwe, “Koppa Okukkiriza Kwabwe” ebyafulumira mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali 1 ne Jjulaayi 1, 2008.

^ lup. 13 Yezeberi ayinza okuba nga yatta batabani ba Nabosi olw’okuba yali akimanyi nti be bandisikidde ennimiro ya kitaabwe. Okumanya ensonga lwaki Katonda aleka ebintu ng’ebyo ebitali bya bwenkanya okubaawo, laba ekitundu ekirina omutwe “Abasomi Baffe Babuuza” ekiri mu katabo kano.