Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OLUTALO OLWAKYUSA ENSI

Oyo Aviirako Entalo n’Okubonaabona

Oyo Aviirako Entalo n’Okubonaabona

Nga Noovemba 11, 1918, Ssematalo Eyasooka yaggwa. Bizineesi zaggalwawo, era abantu beeyiwa ku nguudo okujaganya. Naye okujaganya okwo tekwamala bbanga ddene. Waabalukawo obulwadde obw’omutawaana ennyo.

Obulwadde obwo bwali buyitibwa Spanish flu era mu Jjuuni 1918, bwakwata abajaasi abaali mu ddwaniro mu Bufalansa. Okumanya bwali bwa mutawaana, bwatta abajaasi ba Amerika bangi nnyo n’okusinga abo abaafiira mu lutalo. Olutalo bwe lwaggwa, abajaasi baddayo mu nsi zaabwe nga balina obulwadde obwo, era ekyo kyabuviirako okusaasaana mu nsi yonna.

Olutalo olwo lwakosa nnyo ensi. Olutalo we lwaggwera mu 1918, amawanga mangi mu Bulaaya gaalimu enjala ey’amaanyi. Mu 1923, eby’enfuna bya Bugirimaani byasereba nnyo. Oluvannyuma lw’emyaka mukaaga, eby’enfuna mu nsi yonna byagootaana. Kyokka mu 1939, ssematalo ow’okubiri yatandika. Ssematalo eyasooka yali ng’eyeeyongedde mu maaso. Lwaki wajjawo ebizibu ebyo eby’amaanyi ennyo era eby’okumukumu?

KABONERO AKALAGA NTI TULI MU NNAKU EZ’OLUVANNYUMA

Obunabbi obuli mu Bayibuli butuyamba okumanya ensonga lwaki wazze wabaawo ebintu ebitali bimu, gamba nga Ssematalo I. Yesu yagamba nti ekiseera kyandituuse ‘eggwanga erimu ne lirumba eggwanga eddala’ era nti wandibaddewo enjala n’endwadde ez’amaanyi okwetooloola ensi yonna. (Matayo 24:3, 7; Lukka 21:10, 11) Yagamba abayigirizwa be nti ebintu ng’ebyo byandibadde kabonero akalaga nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma. Ekitabo kya Bayibuli eky’Okubikkulirwa kitunnyonnyola ebisingawo. Kiraga nti ebizibu ebizze bibaawo ku nsi birina akakwate n’olutalo olwali mu ggulu.—Laba ebyo ebiri wansi w’omutwe,  “Olutalo ku Nsi n’Olutalo mu Ggulu.”

Ate era ekitabo ky’Okubikkulirwa kyogera ku basajja bana abeebagadde embalaasi. Basatu ku bo bakiikirira ebizibu Yesu bye yayogerako—entalo, enjala, n’endwadde ez’amaanyi. (Laba ebiri wansi w’omutwe,  “Ddala Abeebagazi b’Embalaasi Abana Weebali Leero?”) Awatali kubuusabuusa, ssematalo eyasooka yali ntandikwa butandikwa ey’ebiseera eby’okubonaabona. Bayibuli eraga nti Sitaani ye yaviirako olutalo olwo. (1 Yokaana 5:19) Ebikolwa bya Sitaani biriggibwawo?

Ekitabo ky’Okubikkulirwa era kitukakasa nti Sitaani asigazza “akaseera katono.” (Okubikkulirwa 12:12) Eyo ye nsonga lwaki alina obusungu bungi era aleeseewo okubonaabona kungi ku nsi. Ku luuyi olulala, okubonaabona kwe tulaba kulaga nti ekiseera kya Sitaani kiweddeyo.

EBIKOLWA BYA SITAANI BIJJA KUGGIBWAWO

Ssematalo I ddala lwali lutalo olw’ebyafaayo. Lwe lwali entandikwa y’entalo ezitatadde, obwegugungo, n’abantu obuteesiga bafuzi baabwe. Ate era olutalo olwo bukakafu obulaga nti Sitaani yagobebwa mu ggulu. (Okubikkulirwa 12:9) Omufuzi w’ensi ono atalabika yeeyisa ng’omufuzi nnaakyemalira amanyi nti ennaku ze ez’okufuga zinaatera okuggwaako. Ekiseera kya Sitaani bwe kinaggwaako, okubonaabona kwonna okuzze kubaawo okuviira ddala ku Ssematalo I kujja kukoma.

Nga bwe tulabye nti Obunnabbi obuli mu Bayibuli butuukirira, tusobola okuba abakakafu nti Yesu Kristo, Kabaka waffe ow’omu ggulu, anaatera “okuggyawo ebikolwa by’Omulyolyomi.” (1 Yokaana 3:8) Abantu bukadde na bukadde basaba Obwakabaka bwa Katonda bujje. Naawe osaba bujje? Obwakabaka obwo bwe bunajja, Katonda by’ayagala bye bijja okukolebwa ku nsi, so si Sitaani by’ayagala. (Matayo 6:9, 10) Obwakabaka bwa Katonda bwe bunaaba bufuga, tewajja kubaawo ntalo! (Zabbuli 46:9) Bw’onooyiga ebikwata ku Bwakabaka obwo, ojja kufuna obulamu obutaggwaawo mu nsi ejja okubaamu emirembe emyereere!Isaaya 9:6, 7.