Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIBUUZO 2

Oyinza Otya Okuyiga Ebikwata ku Katonda?

“Ekitabo kino eky’Amateeka tekivanga ku mimwa gyo, era onookisomanga n’okifumiitirizangako emisana n’ekiro, osobole okukolera ku ebyo byonna ebikirimu; olwo lw’onootuuka ku buwanguzi era ne weeyisa mu ngeri ey’amagezi.”

Yoswa 1:8

“Beeyongera okusoma ekitabo, kwe kugamba, Amateeka ga Katonda ow’amazima, mu ddoboozi ery’omwanguka, ne bagannyonnyola bulungi era ne baggyayo amakulu; bwe batyo ne bayamba abantu okutegeera ebyali bisomebwa.”

Nekkemiya 8:8

“Alina essanyu omuntu atakolera ku magezi g’ababi, wadde okuyimirira mu kkubo ly’aboonoonyi . . . , naye amateeka ga Yakuwa ge gamusanyusa, era asoma amateeka ge n’agafumiitirizaako emisana n’ekiro. . . . Buli ky’akola ebivaamu biba birungi.”

Zabbuli 1:​1-3

“Firipo n’adduka n’atuuka okumpi n’eggaali n’amuwulira ng’asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya mu ddoboozi eriwulikika, n’amubuuza nti: ‘Ddala otegeera by’osoma?’ N’amuddamu nti: ‘Nnyinza ntya okubitegeera okuggyako nga waliwo annyinyonnyodde?’ ”

Ebikolwa 8:​30, 31

“Engeri ze ezitalabika, kwe kugamba, amaanyi ge agataggwaawo n’Obwakatonda bwe, zirabikira ddala bulungi okuva ensi lwe yatondebwa, kubanga zitegeererwa ku bintu ebyatondebwa, ne kiba nti tebalina kya kwekwasa.”

Abaruumi 1:​20

“Ebintu bino bifumiitirizengako, byemalireko, okukulaakulana kwo kweyoleke eri abantu bonna.”

1 Timoseewo 4:​15

“Ka buli omu ku ffe alowoozenga ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi, nga tetulekaayo kukuŋŋaananga wamu.”

Abebbulaniya 10:​24, 25

“Bwe wabaawo omuntu yenna mu mmwe eyeetaaga amagezi, asabenga Katonda, kubanga agabira bonna nga talina gw’akambuwalira; era gajja kumuweebwa.”

Yakobo 1:5