Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIBUUZO 18

Oyinza Otya Okusemberera Katonda?

“Ai ggwe awulira okusaba, abantu aba buli kika banajjanga gy’oli.”

Zabbuli 65:2

“Weesigenga Yakuwa n’omutima gwo gwonna, era teweesigamanga ku kutegeera kwo. Mulowoozengako mu byonna by’okola, anaatereezanga amakubo go.”

Engero 3:5, 6

“Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.”

Yokaana 17:3

“[Katonda] tali wala wa buli omu ku ffe.”

Ebikolwa 17:27

“Kino kye nneeyongera okusaba, nti okwagala kwammwe kweyongere awamu n’okumanya okutuufu era n’okutegeera mu bujjuvu Katonda by’ayagala.”

Abafiripi 1:9

“Bwe wabaawo omuntu yenna mu mmwe eyeetaaga amagezi, asabenga Katonda, kubanga agabira bonna nga talina gw’akambuwalira; era gajja kumuweebwa.”

Yakobo 1:5

“Musemberere Katonda naye anaabasemberera. Munaabe engalo zammwe mmwe aboonoonyi, era mutukuze emitima gyammwe mmwe abatasalawo.”

Yakobo 4:8

“Okwagala Katonda kitegeeza okukwata ebiragiro bye; era ebiragiro bye tebizitowa.”

1 Yokaana 5:3