Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekyamateeka

Essuula

Ebirimu

  • 1

    • Bava ku Lusozi Kolebu (1-8)

    • Abaami n’abalamuzi balondebwa (9-18)

    • Obujeemu e Kadesi-baneya (19-46)

      • Abayisirayiri bagaana okuyingira mu nsi (26-33)

      • Balemererwa okuwamba Kanani (41-46)

  • 2

    • Babundabundira mu ddungu emyaka 38 (1-23)

    • Kabaka Sikoni owa Kesuboni awangulwa (24-37)

  • 3

    • Kabaka Ogi owa Basani awangulwa (1-7)

    • Okugabanyaamu ensi ku luuyi olw’ebuvanjuba wa Yoludaani (8-20)

    • Yoswa agambibwa obutatya (21, 22)

    • Musa agaanibwa okuyingira mu nsi (23-29)

  • 4

    • Abantu bakubirizibwa okuba abawulize (1-14)

      • Teweerabira bikolwa bya Katonda (9)

    • Yakuwa ayagala okumwemalirako (15-31)

    • Teri Katonda mulala okuggyako Yakuwa (32-40)

    • Ebibuga eby’okuddukiramu ku luuyi olw’ebuvanjuba wa Yoludaani (41-43)

    • Okwanjula Amateeka (44-49)

  • 5

    • Endagaano ya Yakuwa ku Kolebu (1-5)

    • Ebiragiro Ekkumi biddamu okumenyebwa (6-22)

    • Abantu batya nga bali wansi ku Lusozi Sinaayi (23-33)

  • 6

    • Yagala Yakuwa n’omutima gwo gwonna (1-9)

      • “Wulira ggwe Isirayiri” (4)

      • Abazadde balina okuyigiriza abaana baabwe (6, 7)

    • Teweerabira Yakuwa (10-15)

    • Temugezesanga Yakuwa (16-19)

    • Mubuulire omulembe oguliddawo (20-25)

  • 7

    • Amawanga musanvu ag’okuzikirizibwa (1-6)

    • Ensonga lwaki Isirayiri yalondebwa (7-11)

    • Obuwulize buvaamu emikisa (12-26)

  • 8

    • Emikisa okuva eri Yakuwa giddamu okwogerwako (1-9)

      • “Omuntu taba mulamu lwa mmere yokka” (3)

    • Teweerabiranga Yakuwa (10-20)

  • 9

    • Ensonga lwaki Isirayiri yaweebwa ensi (1-6)

    • Abayisirayiri banyiiza Yakuwa emirundi ena (7-29)

      • Ennyana eya zzaabu (7-14)

      • Musa yeegayirira ku lw’abantu (15-21, 25-29)

      • Banyiiza Yakuwa emirundi emirala esatu (22)

  • 10

    • Ebipande bibiri biddamu okukolebwa (1-11)

    • Yakuwa ky’atwetaaza (12-22)

      • Tya Yakuwa era mwagale (12)

  • 11

    • Mwalaba obukulu bwa Yakuwa (1-7)

    • Ensi Ensuubize (8-12)

    • Empeera ey’okuba abawulize (13-17)

    • Ekigambo kya Katonda kirina okuteekebwa ku mitima (18-25)

    • “Omukisa n’okukolimirwa” (26-32)

  • 12

    • Okusinziza Katonda mu kifo ky’anaalonda (1-14)

    • Ba ddembe okulya ennyama so si musaayi (15-28)

    • Totwalirizibwanga bakatonda balala (29-32)

  • 13

    • Eky’okukola bakyewaggula (1-18)

  • 14

    • Bye batasaanidde kukola mu kukungubaga (1, 2)

    • Eby’okulya ebirongoofu n’ebitali birongoofu (3-21)

    • Ekimu eky’ekkumi kya Yakuwa (22-29)

  • 15

    • Ebbanja lisazibwamu buli luvannyuma lwa myaka musanvu (1-6)

    • Okuyamba abanaku (7-11)

    • Okuta abaddu buli luvannyuma lwa myaka musanvu (12-18)

      • Okuyisa olukato mu kutu kw’omuddu (16, 17)

    • Ensolo embereberye za kutukuzanga (19-23)

  • 16

    • Okuyitako; Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse (1-8)

    • Embaga ey’Amakungula (9-12)

    • Embaga ey’Ensiisira (13-17)

    • Okulonda abalamuzi (18-20)

    • Ebitalina kusinzibwa (21, 22)

  • 17

    • Ebiweebwayo tebirina kubaako bulemu (1)

    • Engeri y’okukwatamu ensonga za bakyewaggula (2-7)

    • Emisango emizibu okulamula (8-13)

    • Obulagirizi eri kabaka anaabanga alondeddwa (14-20)

      • Kabaka alina okukoppolola Amateeka (18)

  • 18

    • Omugabo gwa bakabona n’Abaleevi (1-8)

    • Eby’obusamize tebikkirizibwa (9-14)

    • Nnabbi alinga Musa (15-19)

    • Kw’otegeerera bannabbi ab’obulimba (20-22)

  • 19

    • Omusango gw’okuyiwa omusaayi n’ebibuga eby’okuddukiramu (1-13)

    • Obubonero obulamba ensalo tebulina kukyusibwa (14)

    • Okuwa obujulizi mu kkooti (15-21)

      • Abajulizi balina kuba babiri oba basatu (15)

  • 20

    • Amateeka agakwata ku kulwana entalo (1-20)

      • Abatalina kugenda mu lutalo (5-9)

  • 21

    • Obutemu obutamanyiddwa yabukola (1-9)

    • Okuwasa omukazi awambiddwa mu lutalo (10-14)

    • Omugabo gw’omwana omubereberye (15-17)

    • Omwana omuwaganyavu (18-21)

    • Omuntu awanikibwa ku muti aba akolimiddwa (22, 23)

  • 22

    • Okufaayo ku nsolo y’omuntu omulala (1-4)

    • Okwambala engoye ez’omuntu bwe mutafaananya kikula (5)

    • Okulaga ebisolo ekisa (6, 7)

    • Omuziziko waggulu ku nju (8)

    • Okugattika ebintu okutakkirizibwa (9-11)

    • Ebijwenge ku ngoye (12)

    • Amateeka agakwata ku kwegatta (13-30)

  • 23

    • Abatakkirizibwa mu kibiina kya Katonda (1-8)

    • Obuyonjo mu lusiisira (9-14)

    • Omuddu anaabanga adduse (15, 16)

    • Obwamalaaya tebukkirizibwa (17, 18)

    • Okusaba amagoba n’okutuukiriza obweyamo (19-23)

    • Abayise bakkirizibwa okulya ku by’omu nnimiro y’omulala (24, 25)

  • 24

    • Obufumbo n’okugattululwa (1-5)

    • Okuwa obulamu ekitiibwa (6-9)

    • Okufaayo ku baavu (10-18)

    • Amateeka ku kukuŋŋaanya ebisigalidde (19-22)

  • 25

    • Amateeka ku kukubwa kibooko (1-3)

    • Tosibanga mumwa gwa nte ng’ewuula (4)

    • Okuwasa muka muganda wo (5-10)

    • Okukwata ebitundu eby’ekyama eby’abo ababa balwana (11, 12)

    • Ebipimo ebituufu (13-16)

    • Abamaleki balina okuzikirizibwa (17-19)

  • 26

    • Okuwaayo ebibala ebibereberye (1-11)

    • Ekimu eky’ekkumi eky’omulundi ogw’okubiri (12-15)

    • Isirayiri, kintu kiganzi eri Yakuwa (16-19)

  • 27

    • Amateeka ga kuwandiikibwa ku mayinja (1-10)

    • Ku Lusozi Ebali ne ku Lusozi Gerizimu (11-14)

    • Ebikolimo byogerwa (15-26)

  • 28

    • Emikisa olw’obuwulize (1-14)

    • Ebikolimo olw’obutaba bawulize (15-68)

  • 29

    • Endagaano ne Isirayiri e Mowaabu (1-13)

    • Okulabulwa ku biva mu butaba bawulize (14-29)

      • Ebintu ebikisiddwa, ebintu ebibikkuddwa (29)

  • 30

    • Okukomawo eri Yakuwa (1-10)

    • Ebiragiro bya Yakuwa si bizibu nnyo (11-14)

    • Okweroboza obulamu oba okufa (15-20)

  • 31

    • Musa ng’anaatera okufa (1-8)

    • Okusoma Amateeka mu lujjudde (9-13)

    • Yoswa alondebwa (14, 15)

    • Obujeemu bw’Abayisirayiri bulagulwa (16-30)

      • Oluyimba olw’okuyigiriza Isirayiri (19, 22, 30)

  • 32

    • Oluyimba lwa Musa (1-47)

      • Yakuwa, Lwazi (4)

      • Isirayiri yeerabira Olwazi lwe (18)

      • “Okuwoolera eggwanga kwange” (35)

      • “Musanyuke mmwe amawanga awamu n’abantu be” (43)

    • Musa wa kufiira ku Lusozi Nebo (48-52)

  • 33

    • Musa awa ebika omukisa (1-29)

      • ‘Emikono gya Yakuwa egy’emirembe n’emirembe’ (27)

  • 34

    • Yakuwa alaga Musa ensi (1-4)

    • Musa afa (5-12)